POLIISI e Mukono eliko omusajja agambibwa okuba nga yadduumira akabinja ka bantu
bateega abantu ne bababbira ku byuma bya sente ebimanyiddwanga ATM.
Robert Musinguzi 32 akola ogw’okusuubula engaato mu Kisenyi e Kampala yakwatiddwa era nga okumukwata abadde atambulira mu motooka ey’ekika kya Wish Number UBB 220V saako ne munne ategerekese nga ye Charles Baguma nga bano poliisi bwe yazizza mu motooka yabwe musangiddwamu ATM card 9 ez’abantu abenjawulo.
Musinguzi okukwatibwa kiddiridde okubba ATM ya Sadam Lugalukiye 29 omutuuze ku kyalo Kauga mu Munisipaari ye Mukono bwe yabadde agenze ku bbanka ya DFCU ettabi erye Mukono oluvanyuma nga wano Musinguzi we yamusanze ne yefuula amauyamba ne kyaddiridde kwe kumuwa kkaadi enfu nagenda ne nnamu.
Sadam olwakizudde nti alabika abbiddwa kwe kutemya ku ba Boda Boda abaagobye emmotoka eno era ne bagitayiza okumpi ne Poliisi ye Mukono, nga baagala okujookya wabula Poliisi nejja mangu ne bataasa.
Ono mukumukunnya akkiriza nga bwateega abantu nababba ku bank ezenjawulo muli DFCU, Centenary saako ne Standard Charted Bank ng’omulimu gunno wanno mu kampala ne Mukono abadde yakagukolera emyezi 18.
Omudumizi wa Poliisi ye Mukono Rogers Seguya yagambye nti, bagenda kwongera okunyweza eby’okwerinda ku ma bbanka, nti kubanga abafere abaferera ku zo beeyongedde obungi.
Yasabye abantu okwegendereza nga baggyayo ensimbi ku byuma, nagamba nti ababbi bano awo we bateegera nabasaba okutegeeza ku poliisi mangu bano bakwatibwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com