AKAKIIKO ka palimenti akavunanyizibwa ku by’obulamu kavuddeyo ne kanenya omuwandiisi we nkalakkalira mu Minisitule ye by’obulamu Dr. Diana Atwine okweyingiza mu bye ngaba ye mirimu mu Minisitule gyakolera ekivuddeko abakozi abamu okwabulira emirimu gyabwe mu buwaze.
Akakiiko kano akakulemberwa omubaka Dr. Micheal Bukenya era kakizudde nti Atwine yabadde yateekawo enkola eyiye eyawukana ku kakiiko akagaba emirimu mu Ministry ye by’obulamu ka Health Service Commision, era nga yayagala okusalawo ku bakozi abafuna emirimu egy’ekiseera mu Minisitule, saako n’okweyingiza mu mbeera y’okukuza abakozi mu Minisitule y’ebyobulamu.
Eno ye nsonga lwaki yayitiddwa abeeko byabuuzibwa nga ensonga tezinagenda wala, era ababaka baamutegezezza nti akakiiko akagaba emirimu kokka ke kalina obuyinza okuwandiika saako n’okulabirira abakozi.
“Kino kimanye nti omenya Ssemateeka okweyingiza mu ngaba ye mirimu, singa wali oyagala etteeka likyusibwe wandibadde otutegeeza ne tuleeta enongosereza mu Palimenti bwoba nga oyagala eby’okuwandiisa abakozi bikyusibwe” Ababaka bwe baategezezza Atwine.
Ababaka era bamuwadde amagezi okukolera awamu n’akakiiko akagaba emirimu aka Minisitule, sso ssi kutekawo nkola yiye nga omuntu gye baayogeddeko nti eleetawo entalo mu bakozi b’ebyobulamu.
Mu kwanukula Atwine yategezezza akakiiko nti waliwo abakozi 3 abaali bamuwerezeddwa okuterako omukono bakuzibwe nti kyokka yakizuula nti bano baali baanonyerezebwako olw’eneeyisa ekyaamu era nga baalabika nti tebakyalina mutima gukolera Ggwanga mu byabulamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com