JJAJJA w’obuyisiraamu mu Ggwanga Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu awanjagidde Poliisi ye Ggwanga n’ebitongole bye by’okwerinda ebilala okuvaayo babeeko kyekolawo amangu ddala kubanga abantu basusse okuttibwa.
Omulangira Nakibinge agamba nti kati abantu batambulirira ku bunkenke kubanga abatemu abeesomye okutwala obulamu bwabwe ne byabwe bangi, kyagamba nti ebitongole ebikuuma ddembe bilina okuvaayo namaanyi ag’ekitalo.
Okwogera bino yabadde akyazizza abayisiraamu mu makaage agasangibwa ku mutala Kibuli, bwe yabadde abagabula ekijjulo kya Eid-Aduha nga bweri enkola ye buli olunaku luno bwe lutuuka.
“Omuntu ennaku zino bwafuluma awaka aba n’okubusabuusa oba akomawo oba nedda, kubanga abatemu bangi abatwala obulamu nga kwotadde n’ebintu byabwe, banaffe ab’ebyokwerinda mbasaba mufeeyo nnyo okulondoola obumenyi bwa mateeka n’obutemu ebikolebwa ku baganda baffe aba Boda Boda, saako n’abantu abalala kubanga ensi eri ku bunkenkenke” Nakibinge bwe yagambye.
Yakuutidde nate abayisiraamu abalina ku nsimbi okuvaayo okudduukiriranga ku batalina mwasirizi nagamba nti emaali yonna gye balina Katonda agibawadde olw’ekigendererwa, kale nga bwe batagikozesa kuyambako ku balala ayinza okugitwala ne basigalirawo kubanga nabo bwe baali balina tebayambanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com