ABAKULEMBERA ekisinde kya People Power bavuddeyo ne basambajja ekiwandiiko ekibadde kitambula ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo nga kilaga okwetonda kwabwe ku bigambo ebyayogeddwa oluvanyuma lw’omuwagizi waabwe Ziggy Wine okufa.
Joel Senyonyi nga ono ye mwogezi wa People power mu ggwanga agambye nti, ekiwandiiko ekitambuzibwa ku mikutu gya mawulire nga kigamba nti ekisinde kyabwe n’omukulembeze waabwe Robert Kyagulanyi beetondera eggwanga olw’okuliwubisa n’amawulire ge batanoonyerezaako agaali gakwata ku nfa y’omuwagizi waabwe Ziggy Wine kikyamu era tekiriiyo.
Agambye nti bye baayogerako mu kiwandiiko omukulembeze waabwe Bobi Wine kye yawandiika ku mukutu gwe nga 5 omwezi guno nti kyali kituufu era kwe bakyasibidde, nagamba nti bannaUganda tebalina kugendera ku bigambibwa nti beetonze kye batannakola.
Senyonyi ayongeddeko nti teri ngeri yonna gye bagenda kutisibwatiisibwamu kwogera ku nkola y’akutulugunya bantu mu Uganda nagamba nti bakyayongera okunoonyereza ku nfa ya mukwano gwabwe Ziggy Wine.
Ku lw’okusatu Bobi Wine yawandiise ku mukutu gwe ogwa Face Book nti ekitongole kya Poliisi ne bwekinatetenkanya okulaga eggwanga nti Ziggy yafudde kabenje, buli muntu yenna akimanyi nti yatulugunyiziddwa era natemulwa.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Patrick Onyango bwabadde ayanukula ku biriwo agambye nti Poliisi yakoze okunonyereza era bye yazudde ne bibulira Ensi, nagamba nti bamaze okulagira aduumira Poliisi mu mabuka ga Kampala okunonyereza ku basasaanya amawulire ag’obulimba agakwata ku nfa ya Ziggy Wine bakwatibwe era bavunanibwe.
Ziggy Wine olunaku lwe ggulo yazikiddwa mu kitundu kye Mitooma mu maserengeta ge ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com