ABANTU 4 bamaze okwesowolayo okuvuganya ku ntebe y’obukulembeze bwe kibiina kya NRM mu Disitulikiti ye Mukono.
Ekifo kino ennaku zino kirimu ebbugumu lya maanyi okusinga ku bifo ebilala byonna olwabantu ab’enjawulo abavaayo buli kaseera okukivuganyako.
Yadde nga ekifo kino bulijjo kilabika nga ekitalina nnyo mbilanye naye kuluno bano bonna 4 bakyagala.
Mu kiseera kino kirimu Hajji Twahir Ssebaggala era nga obubonero bwonna bulaga nti akyayagalira ddala okudda avuganye, yadde nga akibaddemu okumala ebisanja 2.
Ssebaggala mutuuze ku kyalo Kasawo ekisangibwa mu Ggombolola ye Kasawo mu Ssaza lye Nakifuma.
Ono mulimi w’amaanyi era musuubuzi wa mwannyi mu kitundu kino, ono mu by’obufuzi ababigoberera ennyo mu Mukono bagamba nti tabilabikiramu nnyo okusinga abeera nnyo mu mirimu gye egy’obusuubuzi nga eyo gyatera okuva najja okuvuganya obwa Ssentebe era nawangula.
Hajji Harunah Ssemakula Ono azalibwa mu Ggombolola ye Mpatta mu Maserengeta ga Mukono, era nga mukiseera kino ye mumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti ye Mukono ekifo kyabaddemu okuva mu mwaka gwa 2016 nga kati agamba nti ayagala kufuuka Ssentebe omujjuvu asobole okutwala Mukono mu maaso.
Ssemakula buli gyagenda okunoonya obuwagizi agamba nti kye kiseera okufuna Ssentebe we kibiina avaayo ku buli nsonga ekwata ku bantu ba Mukono, kyagamba nti bwaba azze nga Ssentebe kijja kumwanguyira okugatta olujegere wakati wa bakulembeze n’abatuuze abawansi.
“Ssentebe we kibiina ekiri mu buyinza avunanyizibwa kyenkanyi n’abakulembeze abalala mu disitulikiti, okulondoola ebikolebwa ku nsimbi z’omuwi w’omusolo, okulaba nga ebintu ebigambiddwa mu ntekateeka za Gavumenti byonna bituuka gye bilina okulaga mu bantu abawansi saako n’okumanya ebyo ebiluma abantu okusobola okubituusa ku be kikwatako babikoleko” Ssemakula bwe yagambye.
Ono ye nannyini kkampuni ya mazzi emanyiddwanga Hill Water, era nga musuubuzi wa maanyi mu Kampala ne Mukono.
Omulangira Samuel Mayinja Walugembe, Ono Musuubuzi wa byannyanja omwatikirivu ku mwalo gwe Katosi, mulimi era mulunzi mu bitundu eby’enjawulo mu Mukono ne Mubende.
Kinajjukirwa nti ono yavuganyako mu kulonda okwaggwa era kunkomerero naasalawo kulekera Ssebaggala oluvanyuma lwe nteseganya ez’omunda ezaaliwo ku lwe kibiina ne ku lw’obulungi bwa Mukono.
Kuluno agamba nti ka gwake k’etonnye agenda kuvuganya nti kubanga mu nteseganya mwalimu okumulekera ekifo ekyo mu kulonda okuddako.
“Kituufu ekitundu kye Mukono kisigalidde nnyo emabega olw’obukulembeze obuliwo, kyokka tubagamba baveeko nabalala bakoleko kubanga ekifo kino kya bwanakyewa naye tebavaako, kino kituletedde okulowooza nti oba oli awo balina kye balya kye tutamanyi” Mayinja bwe yategezezza.
Yagambye nti yategeka dda poloti ku ttaka lye elisangibwa ku kyalo Kitete mu Munisipaaari ye Mukono okutandika okuzimbako ekitebe kya NRM mu Mukono, nti era olumala okuwangulaomulimu gw’okuzimba nga gutandikirawo.
Davis Lukyamuzi ono ye Kkansala akikirira e Gombolola ye Nagojje ku Disitulikiti ye Mukono, era nga mu kisanja kino abadde muganzi nnyo eri Ssentebe wa Disitulikiti Andrew Ssenyonga era nga Kojja wa Minisita wa Mazzi era nga ye mubaka wa Mukono North Ronald Kibuule.
Agamba nti emu ku nsonga esinze okumuleeta kwe kugatta bannaMukono nti kuba mu kiseera kino beeyawuddemu nnyo, kyagamba nti ye muntu yekka asobola okukola kino kubanga abakulembeze ba NRM abaliko kati kilabika nga kibalemye.
“Entalo mu Mukono nnyigi nnyo olumu zilemesa n’entambula ye mirimu, naye tetulabangako bakulembeze ba kibiina be twalonda nga bajja okutuuza bakulembeze banaabwe okusobola okuzigonjoola, songa be bantu abatuufu okukola ekyo ku lw’obulungi bwe kibiina ne Mukono okutwalira awamu” Lukyamuzi bwe yagambye.
Mu kiseera kino buli agenda okuvuganya atuuza enkiiko era bannaMukono akalulu kano bakalaba nga ak’omuwendo gye bali olwe bbugumu elikalimu, n’obukodyo obukozesebwa mu kukawenja.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com