MUNNAMATEEKA James Muliira abadde yabuzibwawo abantu abatategerekeka ku mande ya ssabiiti eno, era nga ab’omumakaage babadde ku bunkenke kyadaaki azuuliddwa ku kitebe kya bambega e Kireka.
Muliira nga offisi ze zisangibwa ku kizimbe ekiriko National Water mu kibuga kye Mukono abadde anonyezebwa ab’engandaze ne mikwano okumala ennaku ssatu, oluvanyuma lw’okukimibwa abasajja 6 abaali mu ngoye zabulijjo abamujja ku offisi ye wakakalabiza egy’obwapuliida.
Okusinziira ku mukwano gwe era nga ye Meeya we kibuga kye Mukono George Fred Kagimu agambye nti baakoze ekisoboka era ne bamuzuula ku kitebe kya bambega ba Poliisi SIU ekisangibwa e kireka.
Agambye nti emisango egimuvunanibwa gibadde teginategerekeka naye nga basuubira nti ayinza okuba nga alina obuguzi mu ttaka obwakolebwa mu offisi ye gye buvuddeko.
Anyonyodde nti bagenda kukola ekyetagisa kyonna okulaba nga bakwatagana bulungi n’abebyokwerinda okusobola okuteebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com