GENERO Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okuwummuza abajaasi ku madaala ag’enjawulo, kyokka kuluno abadde asuubirwa okuwummuza Gen. David Ssejjusa kubanga kigambibwa nti yasaba dda okuwummula amaggye ge Ggwanga.
Bwe yabadde ayogera ku mukolo gw’okubawummuza Museveni yatenderezza nnyo emirimu bano gye baakola nga kwotadde n’okwenyigira obuterevu mu lutalo olwaleeta NRM mu buyinza, era nabasaba nga yadde bawummudde naye tebadda mu kulera engalo wabula bavengayo bulijjo beenyigire mu mirimu egitwala eggwanga lyabwe mu maaso.
“Mukyalina emyaka egikola musaana kati okwekolerera sso ssi kulera ngalo olwokuba muwummudde, eby’okukola bikyali bingi” Museveni bwe yagambye.
Ye Gen. Sejjusa agamba nti ekyobutaba ku lukalala tekimuyigula ttama kubanga ye takyetaaga kumugamba nti awummule kubanga ye yawummula dda oluvanyuma lwa kooti okusalawo mu mwaka gwa 2016 nti takyali mu maggye ga UPDF nga omulamuzi okusalawo yasinziira ku kuba nti Ssejjusa yali takyafuna musaala okuva mu maggye, era nga yali amaze omwaka mulamba nga taweebwa mirimu gya kukola.
Omwogezi we Ggye lya UPDF Brig. Richard Kalemire agamba nti ekiseera bwe kinatuuka Ssejjusa ajja kuwummuzibwa, naye kati abavunanyizibwa okumuwummuza tebannaba kusalawo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com