ABAVUBUKA abalimi ab’egattira mu kibiina ekimanyiddwanga DIGOWA Youth Group ekisangibwa ku kyalo Ggonve mu Gombolola ye Nabbaale mu Disitulikiti ye Mukono basabye Pulezidenti Museveni abadduukirire abawe ku nsimbi zagenda agaba mu bibiina by’abavubuka eby’enjawulo, nga bagamba nti nabo bakozi nnyo ate nga bafubye n’okulwanyisa ebbula lye mirimu mu kitundu kyabwe.
Bano abasoba mu 200 nga balina yiika ze ttaka ezisoba mu 150 balima ebirime okuli amatooke, omuceere, ennyanya, amapapaali, obutunda, meloni, ensujju ne bilala bagamba nti ku kyalo kyabwe tebakyayagala kulaba muvubuka atalina kyakola, era nga baasalawo kusiiba mu nnimiro okusobola okufuna ensimbi eziva mu bye balimye.
Moses Ssentumbwe nga ono y’omu ku bakulira ekibiina kya DIGOWA agamba nti ettaka lino lyabaweebwa jjajja wabwe, nti kyokka nga yadde bangi mu Famire era nga babeera Kampala baasalawo obutalitunda wabula ne bafuba okulitekako pulojekiti ez’okulima entonotono mu kusooka, oluvanyuma ne bafuna ekilowoozo kyo kuzigaziya ne kigendererwa eky’okufunira emirimu abavubuka b’okukyalo, bafune ku nsimbi eziva mu bulimi nabo beyagale.
“Emabegako wano abavubuka ku kyalo kino nga bakeera kukuba Ludo saako n’okuzannya amatatu era twabayitangako nga tuva e Kampala okujja okulima nga twennyamira kwe kusalawo ne tubatuukirira nabo ne bakkiriza okutwegattako era nga kati tukolera wamu okusobola okwejja mu bwavu.
Tetukozesa bavubuka bokka wabula n’abantu abakuze mu myaka abaagala okutwegattako nabo tetubaleka bbali tukola nabo emirimu egigya mu myaka gyabwe egitali gy’akukakalukana nnyo oluvanyuma ne bafunamu ensimbi ezibayamba n’abomumaka gaabwe.
okusoomozebwa kwe basanga mu bulimi
Ssentumbwe agamba nti ekisinga okubakosa era nga baagala Gavumenti ekinogere eddagala amangu ddala, lye ddagala effu eliri mu katale, agamba nti lino libazza nnyo emabega olwokuba olumu baligula ne bafuuyira ebirime byonna ne bikala era ne bafiirwa nnyo ensimbi empitirivu ze baba bataddemu.
“Emabegako twafiirwa obutunda bwaffe obwali bumaze okulandira ddala era nga twali tubutaddemu ensimbi mpitirivu nnyo, saako ne micungwa byonna ne bikala era awo twafiirwa ensimbi ezisoba mu bukadde 60 ekyo ne kituzza nnyo emabega.
Ebbeyi ye bilime naye olumu etukosa kubanga abasuubuzi batujerega nnyo bwe tuba nga tututte ebilime byaffe mu butale obwenjawulo wano mu Uganda, songa singa Gavumenti eba etuyambyeko okutufunira ku butale ebweru we ggwanga kiba kituyambako kuba tulina ebintu bingi bye tulima ate nga byanjawulo.
Ekilala ffe entekateeka za Gavumenti ezikulakulanya abalimi eno ewaffe tezituuka era tetulina mukungu wa Gavumenti yali atulambuddeko okusobola okumanya ebintu bye tukola, nga kino kitegeeza nti ssinga tufuna obyambi okuva mu Gavumenti nga bwe tuwulira Omukulembeze waffe owe Ggwanga bwalambula abavubuka era nabakwasa ne ku bisawo bya sente, naffe singa atulambulako kijja kutuyamba okugaziya ku bye tukola saako n’okwongera ku muwendo gwe mirimu mu bavubuka.
Patrick Mubiru eyakwasibwa omulimu gw’okutambuza entekateeka ya bonna bagaggawale mu ttundu ttundu lya Greater Mukono, saako n’okulondoola enkola ye mirimu gya Gavumenti okuva mu offiisi ya Ssentebe we Kibiina kya NRM e Kyambogo bwe yabadde abalambula yasiimye emirimu egikolebwa abavubuka ba DIGOWA, nasuubiza okutuusa obubaka bwabwe ew’omukulembeze we Ggwanga asobole okujja okubalambulako saako n’okubaako kyateeka mu nsawo yabwe basobole okwongera ku bye balima.
Mubiru yabakubirizza okwegatta awamu kye yagambye nti kijja kubayamba okufuna ensimbi za Gavumenti nga tebatawaanye nnyo.
“Abaana bano ngenda kusooka mbatwale ewa Gen. Salim Saleh akulira bonna bagaggawale tulabe kyayinza okubakolrawo amangu ddala kubanga tumaze okulaba obusobozi bwabwe” Mubiru bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com