ABAKYALA ab’enjawulo nga beegatiddwako n.abaami enkya ya leero bakedde kuva mu mbeera ne beekalakasa nga bawakanya engeri Omusumba Bugingo gyakuttemu ensonga z’amakaage, ze bagamba nti muno asusse okutyobooleramu ekitiibwa kya Bakyala mu Ggwanga.
Bano abakedde okukwata ebidondi bya ppamba saako ne zi paadi bagamba nti tebayinza kutunula butunuzi nga eyeyita omusajja wa Katonda agenda mu maaso n’okutyoboola ekitiibwa kya mukyalawe Teddy Naluswa Bugingo gwasiiba alangira ekikulukuto mu lujjudde lwa bantu.
“Kino ffe kitutyoboola nga abakyala era tukirabye nga bwe tutaveeyo ku nsonga eno abasajja bagenda kugenda mu maaso n’okutuswazanga buli kadde, kubanga tuba ne bizibu ebyekyama bingi ebitetaaga nsi yonna kumanya” Abakyala bwe bategezezza.
Bagambye nti babadde basazeewo bagende ewa Sipiika mukyala munaabwe bamunyonyole ensonga zino zonna kyokka Poliisi ne beekiika nga okubalemesa nga mu kiseera kino bakyayogerezeganya nayo okulaba nga batuuka ku Palimenti batekeyo okwemulugunya kwabwe ku Musumba Bugingo.
Bigingo ne Mukyalawe owe mpeta Teddy Naluswa baafuna obutakkaanya nga busibuka ku muwala Suzan Nantaba Makula Bugingo gwe yaganza gye buvuddeko nga buli olukya buli omu ayogerera munne ebisongovu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com