Kkooti enkulu eya civil division mu Kampala olunaku leero lwetandika okuwulira omusango gw’okukuba bannamawulire oguvunanibwa omulamuzi Fred Waninda era ono nga yakolanga omuwandiisi wa kkooti mu kitongole kya planning and Development.
Bano okuli Hannington Kisakye owa Smart 24 saako ne Eric Yiga owa Salt Media nga bayambibwako ekibiina ekigatta bannamawulire mu Ggwanga ki Uganda Journalists Association UJA baasalawo okutwala Waninda mu kkooti nga bagamba nti nga 24 ogw’okuna omwaka guno nga asinziira ku kkooti ye by’obusuubuzi mu Kampala yabakkakanako nabayisaamu empi saako n’okwonoona kkamera yaabwe eyekika kya Nikon.
Wanninda okutuuka okukuba bannamawulire kyaddirira abamu ku batuuze ku kyalo Bugujju mu Division ye Mukono okutwala Waninda mu kkooti nga bamulumiriza okutwala ettaka lyabwe ku buwaze, bwe baali bamuyise abatabaganye nga munnamateeka.
Nga eno bannamawulire bano abakolera mu kitundu kye Mukono baali bagenzeeyo okukola emirimu gyabwe, era omulamuzii olwamala okuwuliriza omusango Waninda nafuluma wabweru n’obusungu natandika okubakuba empi nagakonde era teyakoma awo nakwata kkamera eyali ekozesebwa mu kukwata ebifananyi nagikuba wansi ku ttaka ne yatika.
Mu mpaaba yabwe bano baasaba kkooti elagire Waninda abaliyirire ensimbi obukadde 300 olw’okubaswaza saako n’okwonoona ebintu byabwe.
Omulamuzi Andrew Bashaijja yali mu mitambo gyomusango gunno ku ssawa mukaaga ez’omunttunttu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com