ABANTU abakedde ku Ssemadduuka wa Quality Shopping Center e Nalya mu Division ye Namugongo baguddemu ensisi, Omuselikale omukuumi mu kkampuni ya Saracen bwasiseeyo emmundu naakuba omugagga nanyini bbaala ya Hickory Bar and Resturant amasasi agamuttiddewo.
Attiddwa ategerekese nga ye Arnold Mugisha nga ono kigambibwa nti abadde akedde kugenda mu kifo we bakolera dduyiro ekisangibwa ku kizimbe kya Ssemadduuka ono, era nga ababaddewo nga obutemu buno bugwawo bategezezza nti Mugisha afulumye nga alina akagaali mwe bassa ebintu ebiba biguliddwa, nga wano mu butanwa akolobodde emu ku mmotoka ya kasitoma ekinyizizza omukuumi natandika okumuyombesa.
Ekiddiridde ye Mugisha naye okumuddamu ne ddoboozi ekkambwe bonna ne batandika okuyomba, era nga abantu bagenze okulaba nga Mugisha akuba omuselikale ebikonde eby’okumukumu bwabadde agezaako okusongamu emmundu omulundi ogusoose.
Wano abantu baagadde okugezaako okubataasa naye nga buli omu mukambwe nnyo ekiddiridde ye muselikale okusikayo emmundu n’akuba Mugisha amasasi agamujje mu bulamu bwe nsi.
Omukuumi olumaze okutta Mugisha nagezaako okwagala okubinyika mu nsuwa ekidiridde be bantu okumutayiza naye ne bamukuba okutuusa wafudde, era emirambo gynna ne gitwalibwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com