OMUKULEMBEZE we Ggwanga era nga ye Ssentebe we kibiina kya NRM ekiri mu buyinza Yoweri Kaguta Museveni alonze Meeya we Kyengera Haji Abudu Kiyimba okumukwasizaako ku mulimu gwaliko ennaku zino ogw’okukunga abantu be okwekulakulanya nga bayita mu nyingiza y’amaka mu ttundu ttundu lya Buganda.
Haji Kiyimba era nga ye Ssentebe wa NRM mu Disitulikiti ye Wakiso kati yagenda okumyuka Habib Seruwangi ono nga yakulira ekibinja ekyalondebwa gye buvuddeko okuyamba ku Pulezidenti mu kitundu kya Buganda, nga ekifo kino kibaddemu Hon Patrick Nakabaale eyawereddwa emirimu ku kitebe ekikulu ekya Ssentebe we kibiina e Kyambogo.
Bwabadde amukakasa ku mulimu guno omukwanaganya we mirimu mu kitundu kya Buganda Habib Seruwagi agambye nti agambye nti omukulembeze yasazeewo Haji Kiyimba ajje yenyigire buterevu mu mirimu egigenda okukolebwa nga asinziira ku ngeri gyakolamu emirimu gye nga tatiisibwa tiisibwa bwaba asazeewo okukola saako n’okuba owamazima mu byakola.
Seruwagi yagambye nti bagenda kukozesa obumanyirivu mu byobukulembeze Kiyimba bwalina, okusobola okulaba nga batuukiriza ebigendererwa bya Pulezidenti saako ne nkulakulana gyayagala okutuusa ku bantu be abaawansi.
Ye Haji Kiyimba yeeyamye okukola obutebalira okulaba nga atuukiriza omulimu ogwamuwereddwa mukamaawe sentebe we kibiina ekiri mu buyinza era nga ye Pulezidenti we Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com