OMUKULEMBEZE we kibiina kye by’obufuzi ki Democratic Party Norbert Mao alangiridde nga obukulembeze bwe kibiina kino bwe butagenda kusibira muntu yenna ayagala okukyeagattako wabweru, nagamba nti buli ayagala okubegattako bagenda kumuyingiza mu kibiina kubanga beetaga bantu.
“Tugenda kuvuba buli muntu ayagala okwegatta ku kibiina kya DP kubanga twetaaga abantu abalina embavu okuvuganya ku bifo ebyenjawulo, era abantu Yosefu Mayanja amanyiddwanga Chameleon tumaze okumukkiriza okwegatta ku Dp” Mao bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde mu lukungaana lwa mawulire olwa buli wiiki mwe yasinzidde nategeeza nti amaze n’okwogerako ne bazadde ba Joseph Mayanja era ne bamutegeeza nti basanyufu omwana waabwe okukomawo eka mu kibiina kye bakkiririzaamu nga famire.
Yanyonyodde nti Mayanja bagenda kumuyingiza mu butongole ku mukolo ogugenda okubaawo leero ku Sharing Hall e Nsabya era nga wano we bagenda okusinziira okulumba eggwanga lyonna nga baaniriza abantu abaagala okwegatta ku kibiina era babayingize.
“Tugenda kubakubamu tooci buli alina obusobozi okuvuganya tujja kumukwasa bendera ye kibiina avuganye awatali buzibu bwanna, abantu bangi babadde batya okudda mu kibiina songa baffe ddala naye kati tubayita bajje eno ye wammwe” Mao bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com