OMUDUUMIZI wa Poliisi ye Ggwanga Martin Okoth Ochola agamba nti tewali buzibu bwonna eri Poliisi ye Ggwanga okukolera awamu ne Ggye lya UPDF, kyagamba nti kiyamba okugatta obukugu obwenjawulo wakati mu kukola emirimu.
Ochola okwogera bino abadde ayaniriza abajaasi 4 Pulezidenti be yasindise mu kitongole kya Poliisi okubaako emirimu egyenjawulo gye baddukanya okusinziira ku bukugu bwabwe.
Mubasindikiddwa mu Poliisi mulimu Col. Serunjogi Ddamulira abadde akulira ekitongole ekirwanyisa obutujju mu kitongole ekikessi ekyamaggye CMI, nga kati yagenda okukulira ekitongole ekikessi mu Poliisi ye Ggwanga, nga adda mu bigere bya Kkamisona Godfrey Chombe, asindikiddwa okumyuka akulira Poliisi yeNsi yonna.
Brigadier Jack Bakasumba nga ono abadde akulira ettendekero lya bajaasi abatendekebwa okuyambako mu kukuuma emirembe mu Disitulikiti ye Nakaseke, kati afuuliddwa akulira ebitongole ebikessi byonna mu Poliisi.
Brigadier Godfrey Golooba ono yagenda kati okukulira embeera z’abakozi n’okwekulakulanya mu Poliisi nga adda mu bigere bya AIGP Haruna Isabirye asindikiddwa okukwasaganya emirimu gya Poliisi ku kitebe kya Uganda mu Ggwanga lya America.
Ye Col. Jessy Kamunamwine kati yagenda okukulira eby’emirimu byona mu Poliisi nga adda mu bigere bya AIGP Moses Balimwoyo asindikiddwa mu Ggwanga lya Algeria okukola mu Poliisi ya Africa eyawamu.
Ohola agambye nti beebaza baganda baabwe aba UPDF bulijjo okukkirizanga n’okubawa omukisa okukolera awamu kubanga balina obukungu bwe bayinza okuleeta ne babugatta wamu n’abaPoliisi emirimu omuli okunonyereza ne bilala ne bitambula bulungi.
Anenyezza abantu abagamba nti Pulezidenti afudde ekitongole kya Poliisi okuba ekyamaggye, nagamba nti sikituufu kubanga nti ye guno agulaba nga mukisa okugatta awamu amagezi mu by’okwerinda bye Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com