TAATA w’omuyimbi omuto Patrick Ssenyonjo amanyiddwanga Fresh Kid Paul Mutabaazi kyadaaki apondoose nakkiriza mutabaniwe okugenda e Dubai ayimbe nga taliiko.
Kino kiddiridde omutegesi we bivvulu mu Ggwanga lya Dubai Dj Rahm okuwereza Fresh kid tikiti ze nnyonyi 2 nga kwe kuli ne ya maneja we Francis Kamoga kyokka taata Mutabaazi nalekebwa ebbali.
Kino nga kye kyajja Mutabaazi mu mbeera ku lw’okubiri naategeeza Rahm nti bwaba takkiriza awerekere ku mwana we ekivvulu akisazeemu.
Kino kyajja abawagizi ba Fresh Kid mu mbeera era ne batandika okutabukira Mutabaazi nga bamulangira okulemesa mutabani we Ensi ne mikisa gye.
Wabula mu kiro ekyakesezza olw’okuna Mutabaazi yavuddeyo nategeeza nti ssi kituufu nga abantu bwe bagamba nti ayagala okulemesa omwana we oba okutuula ku kitone kye, nagamba nti Gavumenti bwe yayingira mu mu nsonga za mutabaniwe baakola endagaano nga abazadde n’omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule ye kikula kyabantu Pius Bigirimaana nti Fresh Kid buli walina okugenda okuyimba kubeeko omu ku bazadde be ag’enderako okusobola okumukuuma kubanga mwana muto eyetaaga okulabirirwa abazadde buli kadde.
Yagambye nti endagaano eno ne Maneja wa Fresh Kid yennyini Francis Kamoga yagiteekako omukono, era nakkiriza byonna ebyasalwawo nga yabadde tayinza kukkiriza mwana kugenda nga tamaze kubuuliramu Bigirimana nsonga ezo, kubanga amateeka gaabadde gajja kumukwata.
Yanyonyodde nti yagenze natuula ne Bigirimana era ensonga ne bazigaayamu bwatyo kwe kumukkiriza yesige Kamoga agende ne Fresh Kid era ne bateeka ne mikono ku ndagaano.
“Nsazeewo mu mutima mulungi omwana wange agende e Dubai nga siliiko era ngenda kubawerekerako ku kisaawe kye nnyonyi mbasiibule mu butongole kubanga sisobola kukotoggera mwana wange ate Francis Mwesiga nga omuntu” Mutabaazi bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com