OMUTEGESI we bivvulu Andrew Mukasa amanyiddwanga “Bajjo” olwa kkampuni ye eya Bajjo Events enkya ya leero aleeteddwa ku kitebe kya bambega ba Poliisi e Kireka oluvanyuma lw’okumala ennaku 2 nga abuziddwawo abaselikale abamujja mu lukungaana lwa bannamawulire ku Centenary Park.
Abaselikale abaali mu yunifoomu awamu n’abalala abaali mu ngoye ezabulijjo baazingako ekifo Bajjo we yali era ne bakwatako ye yekka yadde nga yali alina abantu abalala be yali nabo okwali ne Abbey Musinguzi Abitex.
Kisuubirwa nti eno bagenda kumubuuza ku bigambo babadde ayogera ebiteberezebwa okuba nti bikuma mu bantu omuliro.
Bajjo abadde ali mu ntekateeka z’okutegeka emisinde egigendereddwamu okusondera ekisinde kya People power sente.
Ono era yagaanibwa okutegeka ekivvulu kye yali yatuuma Kyarenga extra, era nga ne misango yali yagitwala mu kooti nga awabira Poliisi ne Gavumenti
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com