ABAKUNGU bataano ab’akakiiko k’eddembe ly’obuntu basimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi ne bavunaanibwa okukozesa obubi ofiisi zaabwe.
Wilfred Asiimwe Muganga, Tadeo Wamala, Rebecca Nassuuna, Willy Agirembabazi ne Rebecca Agnes Tino nga bonna bakungu b’akakiiko aka Uganda Human Rights Commission be baasimbiddwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi Pamela Lamunu ne basomerwa emisango okuli okukozesa obubi ofiisi zaabwe, okubulankanya ensimbi, n’okwekobaana okubba ssente za gavumenti.
Okusimbibwa mu kkooti, kiddiridde akakiiko akalwanyisa enguzi akakulirwa Lt. Col. Edith Nakalema okubakwata oluvannyuma lw’okukizuula nti enkola y’emirmu gyaabwe erimu ebirumira.
Kigambibwa nti bano wakati wa August ne November 2018 baggyayo obukadde 25 ne baziteeka ku akawunti ey’obwannannyini eya Rebecca Tino nga bagamba za kukola mirimu gya kitongole kyokka nga balimba.
Baagenda mu maaso ne baggyayo ssente endala obukadde 25, obukadde 40, n’obukadde butaano buli omu ze beegabira ng’ate zaalina kukola mirimu gya gavumenti.
Nga bayita mu looya waabwe, Caleb Mwesigwa baasabye omulamuzi abakkirize okweyimrirwa era ne baleeta ababeeyimrira.
Omuwaabi wa gavumenti Marion Acio yasabye kkooti ebagaane okudda mu ofiisi kyokka kino omulamuzi yakigaanye.
Omulamuzi Lamunu yabakkirizza okweyimrirwa n’abayimbula ku kakalu ka kkooti ka bukadde butaano buli omu ze yabalagidde okusasula mu bbanka, abaabeeyimiridde obukadde 50 ezitali za buliwo n’abalagira n’okuwaayo paasipooti zaabwe mu kkooti.
Omusango gwa kudda mu kkooti nga July 11.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com