ABAKULIRA ekitongole ekimanyiddwanga Chakig Echo Tourism Centre ekisangibwa ku kyalo Nakoosi mu Gombolola ye Nakisunga e Mukono bavuddeyo ne ntekateeka egendereddwamu okutandikawo ekkuumiro lye bisolo wakati mu kutumbula eby’obulambuzi mu Ggwanga.
Ekitongole ekyetololera mu Mawanga 3 okuli Uganda, Kenya ne Tanzania era nga omulimu gwakyo omukulu kutumbula byabulambuzi saako n’okukuuma obutonde bwensi, abakikulira bagamba nti baagala okulaba nga ebitonde byonna Katonda bye yatonda bilabirirwa okusobozesa abantu okubilabako nga bilamu era nga bilabika bulungi.
Akulira Chakig Benard Rugambwa agamba nti entekateeka zonna okutandikawo ekkuumiro lye bisolo mu kitundu kye Mukono ziwedde, era nga bamaze n’okuzimba ekifo we bagenda okuteeka ebisolo bino okusobozesa abantu okujja okubilambulako, era nga bamaze n’okufuna ebiwandiiko okuva mu kitongole kye by’obulambuzi ebibakkiriza okugenda mu maaso ne ntekateeka zaabwe.
“Abantu bangi batambula engendo mpanvu okugenda mu makuumiro g’ebisolo ag’esudde ekibuga Kampala era nga bakozesa ne nsimbi nyingi nnyo, naye kati ffe twagala ebimu ku bisolo ebitwala abantu okulaba tubibasembereze wano okumpi ne kibuga Kampala we baba babisanga” Rugambwa bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde ku mukolo gw’okuggulawo omwoleso gwe by’obulambuzi ogw’atandika ku lw’okutaano wiiki ewedde ne gukomekkerezebwa ku sande, era nga gwetabiddwamu abantu bangi okwabadde n’abaana ba massomero abazze okulaba ku bisolo eby’enjawulo omwabadde empologoma, Engo, emisota, enkima, ebinyonyi ne bilala bingi.
Bwe yabadde akulembeddemu okuggulawo ekifo kino Omubaka we kitundu kya Mukono South Johnson Muyanja Ssenyonga yagambye nti nga abakulembeze bagenda kulaba nga bawagira entekateeka y’okuleeta ekkuumiro lye bisolo mu kitundu ky’akiikirira nasuubiza okulwana okulaba nga enguudo mu kitundu ekyo zikolwako mu bwangu okusobozesa abalambuzi okutambula obulungi nga bagendayo.
“Guno omukisa munene oguzze mu kitundu kyaffe kubanga kati abantu baffe bagenda kufuna emirimu, era ne nkulakulana egenda kweyongera okugeza omuwendo gwe ttaka gugenda kulinnya, amasanyalaze tufunye, abantu baffe ababadde batalabanga ku bisolo bagenda kubilaba ne bilala bingi” Muyanja bwe yategezezza.
Mu kusooka abakulembeze b’ekyalo Nakoosi baalajanidde abakulembeze ba Disitulikiti ye Mukono okubayamba ku luguudo oluva e Kigombya okudda e Katente lwe bagamba nti lw’onooneddwa nnyo enkuba nga kati telukyayitikamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com