BANNAMAWULIRE mu Ggwanga bavuddeyo ne basaba Palimenti etunule mu mbeera gye bakoleramu, naddala mu kiseera kino nga ensimbi zebasasulwa ntono nnyo, kye bagamba nti kijja kuyambako okukaka ababakozesa okubongera ku nsimbi nabo beeyagale nga abakozi abalala.
Bano bagamba nti ensimbi ezibasasulwa ntono ddala ate nga bakola omulimu gwa ttendo bw’ogerageranya naabo abafuna obuwanana bwe nsimbi nga tebalina kyamaanyi kye bakola.
Okwogera bino babadde mu lukungaana lwabwe olwayitiddwa ekitongole ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ki Human Rights Network For Journalists Uganda (HRNJU) olutudde ku wooteri ya Imperial Royale mu Kampala ne kigendererwa eky’okwanjula alipoota ekwata ku ngeri eddembe lya bannamawulire gye lyakwatibwamu mu ggwanga omwaka 2018, olw’etabiddwamu ebitongole eby’enjawulo ebilanirira eddembe ly’obuntu saako n’abebyokwerinda.
Akulira ekitongole kya The Obsever Pius Katunzi mu kusooka agambye nti tekyetaagisa Palimenti kuyingira mu byakusasula bannamawulire, kyagambye nti kiyinza okubajja ku mulamwa ne balema okuwandiika ebintu ebituufu saako n’okufuna ky’ekubiira nga bagiwandiikako olw’okuba eba yabalwanirira okufuna ensimbi, nga kino akijja ku kye kibiina ekigatta bannamawulire abagasakira mu Palimenti ki Uganda Parliamentary Press Association gye buvuddeko abalumba Sipiika Rebecca Kadaga nga bagala nabo balowozebweko mu ngeri eyenjawulo era babeeko omutemwa gwa sente ogutekebwa mu kibiina kyabwe basobole okwekulakulanya.
Wabula Moses Mulondo ono nga yakulira ekibiina ekigatta bannamawulire abakolera ku Palimenti amwanukudde nagamba nti kye baakola kituufu kubanga baakilaba nti nabo baalina okufuna ku keeki ye Ggwanga kubanga kye bakolera nayo gye bagitematemera.
“Banange naffe tuli bantu ab’etaaga okulowoozebwako kubanga ekyamazima tuli bubi, bannaffe bafa nga teri yadde afaayo kujjanjaba, tufiira mu mizigo teri azimba ku kayumba yadde olw’obusente obutono obutusasulwa tulina okwelwanako” Munnamawulire Simon Muyanga Lutaaya bwe yategezezza.
Akulira HRNJ-U Robert Sempala bwabadde ayanjula alipoota eno agambye nti nga bulijjo ekitongole kya Poliisi kye kilidde empanga mu kutulugunya bannamawulire, Amaggye, Ababaka ba Gavumenti, Bannabyabufuzi n’abantu ababulijjo ne bageberera.
Agambye nti abakulira ebitongole by’amawulire nabo balina okuvaayo okuyamba ku bakozi baabwe naddala nga bafunye obuzibu wakati mu kukola emirimu gyabwe, kyagamba nti kijja kuyambako mu mbera y’okukolera awamu.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Kampala ne miriraano Patrick Onyango agambye nti kituufu waliwo abaselikale baabwe abatulugunya baannamawulire naye nagamba nti abadde tasuubira nti omuwendo gweyongedde nga alipoota bwe kilambise, naasubiza okwongera okukolera awamu ne bannamawulire okulaba nga bakendeeza ebikolwa ebityoboola eddembe.
Agambye nti baatekawo ekitongole ekikola ku kukwasisa empisa mu Poliisi ki Professional Standards Unit kyagambye nti kino kigenda kuyamba nnyo mu kukwasisa abapoliisi abasiiwuka empisa era nasaba bannamawulire bulijjo okuloopanga abaselikale ababatulugunyizza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com