ENTAANA ya mukoddomi wa Ntakke yasimiddwa walako okuva ku kiggya ng’akabonero k’obutawa kitiibwa muntu yeetuze. Abantu 11 abagambibwa okuba abajjwa be baamuziise. Abaana be ne nnamwandu tebaatuuse ku ntaana.
Embeera eno yayogezza abantu obwama kubanga mu Buganda, omuntu eyeetuze, omulambo gwe teguweebwa kitiibwa. Gukubwa kibooko ne mu ntaana ne gusuulwayo era bwe yabanga yeetugidde mu nsiko ng’awo wennyini we wasimibwa ekinnya, olwo omulambo ne gusalwa ku muguwa ne gugwamu.
Omukolo gwetabiddwaako abanene okwabadde Gen. Edward Katumba Wamala. Omu ku bateesiteesi yategeezezza nti Abalabirizi n’abantu abalala baagenze okuyimirira ne mukwano gwabwe Ntakke ate nga tekikola makulu Munnaddiini okugenda mu kufiirwa n’atabaako bigambo bigumya oba Enjiri gy’abuulira abantu. Mu kiseera kye kimu mu nzikiriza ya Anglican tebasabira bafu era omuntu ne bw’aba teyeetuze Enjiri tebuulirwa ye wabula abakyali abalamu beenenye.
Sinabulya yasabye abantu okukubira abakyala mu ngalo kubanga bazira. N’agamba nti “olwa kino ekyaguddewo abasajja baatidde, kyokka abakyala baasigadde bagumu.” Yasiimye nnamwandu, Maureen Ntakke olw’okuyamba famire ya bba ng’abawa emirimu. N’amusaba okusigala ng’akolagana nabo bulungi wadde nga Kizito agaenze.
Kyokka yamusabye okwekwata Yesu kubanga abeererawo abantu mu bubi ne mu bulungi. Eyasabye ku ntaana, kyategeezeddwa nti naye mujjwa. Abaaziise beeyisizza ebigogo mu ngalo ng’akalombolombo k’Abaganda akakolebwa oluvannyuma lw’okuziika. Kigambibwa nti kateekwa buteekwa okukolebwa ku yeetuze.
Ekyavuddeko Kizito okwetuga tekinnamanyibwa wadde nga kigambibwa nti abadde n’obutakkaanya ne mukazi we Maureen obweyongedde okusajjuka gye buvuddeko mukazi wa Kizito omulala bwe yazze n’abaana. Abaana munaana okuli abawala bataano baalagiddwa Omulabirizi Lubowa.
Kigambibwa nti ku bano, Maureen alinako bana. Omulabirizi Lubowa yabuuzizza Ntakke awaavudde obuzibu n’amunnyonnyola nti ekituufu tekinnamanyika kyokka gye buvuddeko Kizito yamutegezaako nga bw’alina obuzibuzibu obumutawaanya. N’agamba: Ekizibu ky’okwetuga sikirabanga mu famire yaffe. Twetaaga Katonda okukivvuunuka. Omuntu okwetuga kiba kisiraani kyamaanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com