MINISITA omubeezi ow’ebyempuliziganya ne Tekinologiya era nga ye Mubaka omukyala akikirira Disitulikiti ye Kayunga mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Erios Aida Nantaba atabukidde abakulu mu Poliisi ye Ggwanga era nabasaba bamubuulire abantu abali emabega w’okwagala okumutemula nti kubanga n’okutuusa kati tewali kigenda mu maaso okuva Sebulime bwe yattibwa.
Nantaba agamba nti Omuduumizi wa Poliisi Martin Okoth Ochola wamu n’omwogezi Fred Enanga mu kusooka baalaga nti ensonga y’okunonyereza ku bantu abaali emabega w’omuvubuka Ronald Sebulime, bagenda kugilondoola nti era baali bakunonyereza ku masimu omuselikale cpl. David Ssali ge yakubako olunaku olwo, agagambibwa nti mwe yafunira neyamulagira okukuba Sebulime amasasi agamuttirawo.
“Poliisi simanyi kyekola kubanga buli kiseera bagamba banonyereza, oba balinda batemu kumala kunzita simanyi, banange abantu bangi battiddwa okuli Muhamed Kirumira, Abiriga nabalala be bakwata ate be batta naye nze guno kati omulundi gw’akuna emilala temwagimanya ba sebo ne ba nnyabo, mumanyiiko gumu ogw’eyoleka mu lwatu ensi yonna n’emanya” Nantaba bwe yategezezza nga bwayoza ne ku mmunye.
Okwogera bino yabadde mu kusaba okwokwebaza Katonda mu kkanisa y’abadiventi esangibwa mu kabuga k’ebukolooto mu Disitulikiti ye Kayunga ku lw’omukaaga, nga eno abakkiriza bangi saako n’abawagizi be bamwanirizza mu bungi nga kwotadde n’okumukulisa bye yayitamu gye buvuddeko.
Yategezezza nti kati amaze ebbanga lya myezi 2 nga tava waka olw’okutya okuttibwa, nagamba nti awulira nti Sebulime yali ne banne abalala Poliisi beetakwatanga kyagamba nti kitadde embeera y’obulamu bwe mu katyabaaga.
Yanyonyodde nti ayagala nnyo okumanya omuntu ayawa Cpl. Ssali ebiragiro okutta Sebulime gwe baali bamaze okukwata nga ateekeddwa ne ku mpingu.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agambye nti Poliisi tetudde butuuzi era bakola ekisoboka kyonna okulaba nga bafuna obujulizi bwonna obwetaagisa mu musango guno oluvanyuma gutandike okutambula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com