EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Mbalala ekisangibwa mu Gombolola ye Nama e Mukono abaana abalongo ba Minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule bwe bagudde mu kidiba ky’amazzi ekiwugirwamu ne bafa.
Kigambibwa nti abaana bano Kato ne Wasswa ab’emyaka 4 babadde batera okugenda ku kidiba kino kyokka nga tebakkirizibwa kuwuga nga tewali muntu mukulu okusinziira ku omu ku mukwano gwa Kibuule bwategezezza.
Olwaleero engeri abaana bano gye bali nti tebagenze ku ssomero bali mu luwummula beemuludde ku bakozi abako ogw’okubakuuma ne bagenda ku kidiba okugezaako okuwuga kyokka ebyembi bonna ne bagwamu era abaddukirize babasanze omukka gunatera okubaggwamu ne bagezaako okubatwala mu ddwaliro lya Sir Albert Cook e Mukono kyokka ne bafiira mu kkubo nga batwalibwa.
Bano babadde basomera ku ssomero lya Seeta Junior kindegatten elya Minisita Muyingo elisangibwa e Mbalala Mukono.
Mu kiseera kino emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro e Mulago gyekebejjebwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com