EKKANISA ya House of Prayer Ministries yawuniikiridde ate oluvannyuma n’esaanikirwa enduulu ey’oluleekeleeke, OMUSUMBA Aloysius Bugingo bwe yalangiridde nti “ekiba kibe, maliridde okukuba embaga gwe kiruma yette!”.
“ Nze Katonda yantonda kugenda mu maaso ssi kudda mabega, y’ensonga lwaki nkola eby’amagero”, Bugingo bwe yategeezeza ng’asinziira ku kituuti ku kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International.
Yababuuzizza oba nga banaamusonderako ku ssente z’embaga, abamu ku bagoberezi ne bakoteka emitwe wansi kyokka abalala ne basaakaanya nti ‘yeeeee musumba’ okwo ne bagattako enduulu.
Bugingo yagambye abagoberezi nti, waliwo empapula ze yalabye ku mikutu gya yintanenti eziraga okwawukana kwe ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo n’agamba nti, empapula ezo si ntuufu kyokka balindirire essaawa yonna aleeta entuufu era ajja kuziwaako ne Naluswa.
“Nze sigenda kudda wa Teddy ne bw’akola atya sisobola kudda mu nnyumba gye yali anzitiramu, nnina omukazi era ng’enda ku muwasa nammwe mujja kumulaba, abanansondera muli wa” Bugingo bwe yewanye.
Bwe yamaze okubategeeza ebyo ne bakkiriza nti bajja kumusondera n’akola katemba nga bw’ababuuza nti ‘Ndeete ndeete’ ne basaakaanya nti. ‘Leeta’ awo n’atulika n’aseka.
Bugingo azze asuubiza abagoberezi be okubanjulira omugole wabula buli lw’ajja mu kusaba baba basuubira nti anaamubalaga era buli lw’ababuuza nti ndeete baba bulindaala nga balowooza nti gw’agenda okubanjulira .
Yasoose kuddamu kwetondera bagoberezi be ne Bannayuganda olw’ebigenda mu maaso nti bamusonyiwe kubanga akimanyi nti nabo bayita mu buzibu kumpi bwe bumu bw’ayitamu.
Bugingo olwamaze okwetonda n’asumulula n’ategeeza nga bw’atakyayinza kuddira mukyala we Teddy Naluswa kubanga yasalawo kugenda n’abasumba abamuwalana obwedda b’ayita abafalisaayo ababadde baagala okumusanyaawo .
Yagasseeko nti mukayala we ne muwala we Doreen Kirabo baasukka okumuswaza bwe badda ku mikutu gy’amawulire nebatandika okumuyita omubbi era omwenzi .
“ Omwana owange n’anzirako n’ampita omwenzi lukulwe, kati olwo ye abeera yaggya atya? kubanga nze ne Teddy twagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu mwaka gwa 2008 kyokka ye Doreen twamuzaala mu mwaka gwa 1992 ekitegeeza nti naye twamuzaala mu kikolwa kya bwenzi era okwogera ebyo teyamala kukirowozaako kubanga amagezi alina matono nga nnyina ” Bugingo obwedda bw’awanda omuliro.
Bugingo yagambye nti, Teddy yamuwaayira nga bw’amukaka okwawukana era n’alaga n’empapula enjingirire ng’ayagala bamusaasire n’atamanya nti, yeesimira bunnya kubanga kati agenda kulaba ku mpapula z’okwawukana entuufu era essaawa yonna zimutuukako kubanga ye yakyerangirirako ng’omukazi wa katonda nga bwe yeeyita .
“Kagwake, keetonnye, sikyadda mabega, mwenna kati mukimanyi tekikyali kyama, nafuna omukazi omulala era ngenda kumuwasa essaawa yonna.” Bugingo bwe yategeezezza.
“Nze Teddy ne bwakola atya, k’ayogere mu mawulire okusuula enjuba sisobola kudda mu nnyumba y’e Kitende gye yali anzitiramu ngenda kubanjulira omukyala gwe ng’enda okuwasa essaawa yonna nammwe mumulabe” Bugingo bwe yategeezezza abagoberezi mu bumalirivu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com