ABAMU ku bakansala ku lukiiko lwa municipality ye lugazi bakubye ebituli mu nteekateeka y’akatale aka lugazi central division akali okuzimbibwa mukadde kano.
Kino kiddiridde abakulembeze ba munisipalite eno okugenda okulambula omulimu we gutuuse ogw’okuzimba akatale kano wabula bwe batuuse eyo nebakuba ebituli mu ngeri abazimba akatale kano gye baakateekateekamu emiddaala abasubuzi kwe bagenda okutundira ebintu byabwe.
Bakansala nga bakulembeddwamu Kansala Mugoya Steven bategezeeza nti, bbo endowooza zabwe zebawaayo zirabika nga zasuulibwa muguluka, olwo abakwata omulimu gw’okuzimba akatale kano ne batandika kukola byabwe.
Yategezezza nti balambudde emidaala egizimbibwa era ne bakizuula nti tegituukanye namutindo ogwabasuubizibwa mu pulaani gye babawa n’agamba nti bagenda kuyita abaakwasibwa omulimu gw’okuzimba babategeeze bye bazudde ebitagenda bulungi, nga omu ku kawefube w’okwongera okutereeza, saako n’okulaba nga ensimbi z’omuwi w’omusolo tezifa ttogge.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com