ABAKULIRA ekifo kye by’obulambuzi ekimanyiddwanga Chakig Echo-Tourism Centre ekisangibwa ku kyalo Nakoosi mu Gombolola ye Nakisunga e Mukono, batandiseewo ekifo awakuumirwa ebisolo by’omunsiko ne kigendererwa eky’okutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga
Bano bagamba nti abantu bangi babadde batambula engendo mpanvu okugenda okulambula ebisolo mu makuumiro gaabyo ag’esudde ebbanga eddene, ate nga bakozesa ensimbi mpitirivu songa basobola n’okubisanga okumpi n’ebitundu mwe babeera.
Paul Koorinako omu ku baddukanya ekifo kya Chakig yagambye nti, kino bakikoze oluvanyuma lw’okukizuula nti abantu bangi olumu bandyagadde okulaba ku bisolo by’omunsiko, ebinyonyi, ebiwuka, emisota, ebiwojjolo n’ebintu ebilala naye nga tewali we babisanga nga tebatadeemu nsimbi nnyingi.
Agamba nti ebisolo nga empologoma, Engo, engabi, entugga ne bilala kati bagenda kubeera nabyo oluvanyuma lw’okufuna ebiwandiiko n’olukusa okuva mu kitongole ky’ebyobulambuzi ekyabakkirizza babikuume okusobozesa abantu okujja okubilambula.
“Tumaze ebbanga ddene nga tulina ekirooto kino era twagula ettaka ddene okuli n’ekibira, okusobola okulaba nga tuteekawo embeera ennungi mu kifo we tugenda okukuumira ebisolo bino abantu baffe babisange nga bili mu mbeera nnungi” Koorinako bwe yategezezza.
Yayongeddeko nti kuluno bategese n’omwoleso gw’ebisolo by’omunsiko ogugenda okutandika nga 6 okutuuka nga 9 omwezi gw’omukaaga okusobozesa abantu n’aayizi b’amassomero okugenda ku kyalo Nakoosi okwelabira ku bisolo bino, ebinyonyi, emisota, ebiwuka ne bilala.
“Twagala tulage bannaUganda nti katonda yatonda eggwanga lyaffe nga lyanjawulo nnyo, kubanga buli kintu kituli kumpi naye lwakuba tubadde tetufaayo, era tukowoola abantu okujja nga 6-9 omwezi guno bajje beelabire ku bisolo by’omunsiko, ebinyonyi, emisota, ebiwojjolo, emmere ennaNsi, nebilala” Koorinako bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com