EYALI munnamawulire wa Pulezidenti Museveni Joseph Tamale Mirundi agamba nti singa omubaka wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Ssentamu agendera ku nkola gyakozesa kati mu kutambuza ekintu kye ekya People Power ayinza okukomekkereza nga atutte obuyinza, kubanga enkola ze zonna z’efananyirizaako ku z’eyali Ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi.
“Okusinziira omwana ono engeri gyakolamu ebintu bye nange enewunyisa kubanga elabika elimu omukono omwekusifu ogwa Mbabazi kubanga nze mumanyi musajja mugezi nnyo era abali mu Gavumenti tebamusobola” Mirundi bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde ku Pulogulaamu ya ONE on ONE ne Tamale Mirundi ku Ttivvu ya NBS bwe yabadde ayanukula ku nsonga eziriwo mu ggwanga omuli n’ekyaboludda oluvuganya okugenda mu maka ga Kyagulanyi ne bamulabako okumukulisa ekkomera.
Yanyonyodde nti ye bwatunulira Bobi Wine n’ebintu byakola alabira ddala nga aliko wajja amagezi kubanga okusinziira nga bwamanyi Mbabazi tasobola kudda waka n’asirika nga waliwo awalula Gavumenti, kubanga abaamugobya mu Gavumenti, saako n’abaalya sente ze bwe yali yesimbyewo ku kifo ky’obwaPulezidenti bakyaliwo nga kati alina kukozesa Bobi Wine abasuule.
Yerwanyeko nga bwayogerera Gavumenti ebirungi nti naye talina kaafunayo, nti wabula awulira buwulizi nga waliwo ababba ensimbi ku Museventi nti bamwogerere era naazibawa nga ye (Tamale) akolera bitole bya mmere.
“Nange nja kusalawo nzire ewange ntuule ndekere awo okugenda ku mikutu gye mpuliziganya, byonna tubilekere ababbi be sente babikole, Kyokka ekyewunyisa tebabisobola era mbasekeredde” Mirundi bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com