EKIBIINA ekigatta ebibiina by’abantu abaliko obulemu mu ggwanga ekya NUDIPU kiwanjagidde Gavumenti okubongera ku ssente basobole okuzikozesa mu kibiina kyabwe okwegobako obwavu nga batandikira mu maka gaabwe.
Ssentebe wa NUDIPU, Hajji Bumaali Mpindi agamba nti baweza abantu abasoba mu 600,000 nga ssente obuwumbi 3 Gavumenti z’ebawa buli mwaka ntono ku bizibu bye balina nga kizibu okuzeeyambisa okwegobako obwavu n’asaba Gavumenti okubongera ku ssente basobole okuzitereka n’okwewola mu SACCO yaabwe basobole okwekulaakulanya.
Yabadde ku wooteeri ya Rider e Seeta – Mukono bwe mu musomo gw’okukubaganya ebirowoozo ku bye balina okussaako essira mu nkulaakulana yaabwe n’oluvannyuma babiteeke mu mbalirira y’eggwanga. Mu bye baasoosezza kuliko: ebyenjigiriza, ebyobulamu, okugoba obwavu, okufuna emirimu n’okubangulwa.
Omubaka w’abaliko obulemu mu Palamenti, Muky. Hellen Grace Asamo yasuubizza nga ebbago erirung’amya abaliko obulemu essaawa yonna Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bw’agenda okulissaako omukono lifuuke etteeka nga n’ebimu ku biririmu kye kya buli kitundu mu Uganda okukiikirirwa mu Palamenti nga bwekiri ku bavubuka, Gavumenti okusasula omusaala abataputa b’olulimi eri abo abatasobola kwogera mu bifo gye beetaaga okufuna obuyambi n’ebirala.
Yabakuutidde okwekkiririzaamu kubanga obwongo bwabwe bwe bumu n’abataliiko bulemu n’akubiriza abazadde okwettanira amasomero ga Gavumenti agasomesa abaana abaliko obulemu ebyemikono
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com