MUKYALA w’omusumba Aloysias Bugingo Teddy Naluswa Bugingo yalabiseeko mu kusaba kwa Ssande abagoberezi ne bafa essanyu.
Ono abadde amaze ekiseera nga tajja mu kusaba abantu abamu nga balowooza nti abadde akikola olw’obutakkanya bwe balina mu maka gaabwe, era nga babadde bamaze akaseera nga beeyogerera ebisongovu mu mawulire.
Ono eyatuuse ku ssaawa nga mukaaga ogwemisana yasanze ne Musumba Bugingo yatuuse dda era nga enjiri egenda mu maaso yaddde nga omusumba omukulu yabadde tanaba kutandika kubuulira, wabula abagoberezi olwamulabye ne balaya enduulu eyamaanyi saako n’okuwanika obutambaala nga boogerera waggulu nti Maama waffe atuuse.
Amangu ddala yatwaliddwa mu ntebe z’abakadde be kkanisa era bakira buli muntu ayagala okujja okumugwa mu kifuba nga bamwaniriza, ekyamutuusizza n’okuyungula ku maziga olwe ssanyu elingi.
Wabula teyawereddwa mukisa kubaako kyayogera mu kkanisa era obwedda okusaba kugenda mu maaso nga awuliriza saako n’okwetegereza enkaliriza eri buli eyabadde ayogera.
Wano omusumba Bugingo yayitiddwa okujja okutandika okubuulira nga wabula teyabaddeko kyamaanyi kye yayogedde ku Teddy okujjako okwetondera abagoberezi be olw’ebibaddewo byonna, era wano yakoowodde abakozi bonna aba Salt Media okuli aba Leediyo ne ttivvi ababadde banekedde mu ngoye enzirugavu ne bajja ku kituuti n’atandika okuyimba n’okuzina nabo.
Wano buli muntu yabadde alindiridde okulaba ku muwala ndibassa Suzan Makula Nantaba kubanga naye yoomu ku bakozi ba Salt Media naye teyalabiseeko ekyayongedde okucamula abagoberezi era bakira bagamba nti Makula awanguddwa.
Gye buvuddeko Omusumba Bugingo ne Mukyalawe Teddy babadde balya matereke olwe nsonga ezenjawulo nga omukyala abadde amulumiriza okusuulawo amakaage n’aganza omu ku bakozi be, nga ne Bugingo agamba nti omukya n’omwana baali bagala kubba bintu bye saako n’okwagala okumuwa obutwa ne bilala bingi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com