OMUBAKA wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Ssentamu ennaku 5 eziddako agenda kuzimala mu kkomera e Luzira oluvanyuma lw’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Esther Nakirya okumutegeeza nti asooke agende abeereko eyo okutuusa nga 2 omwezi ogujja.
Omulamuzi Nakirya amusomedde emisango egy’ekuusa ku kwekalakaasa mu biseera Gavumenti we yaterawo omusolo ogumanyiddwanga OTT.
Bamusomedde era emisango okuli okulemererwa okugondera amateeka bwe yali akubye olukungaana mu kibangirizi kya City Square nga tasoose kufuna lukusa okuva ku Poliisi, okukakasa nti abantu abaali bagenda okulwetabamu teabaali na bissi.
Emisango gino gyonna Kyagulanyi agyegaanyi era looya we Asuman Basalirwa n’ategeeza omulamuzi nti abantu ababadde bagenda okumweyimirira bonna basibiddwa wabweru, bwatyo omulamuzi naasindika Kyagulanyi e Luzira okutuuka nga 2.
Kyagulanyi yasoose kutwalibwa ku Poliisi ye Naggalama bwe yakwatiddwa okumpi n’akatale ke Kalerwe, bwe yabadde agenda okweyanjula ku Poliisi e Kibuli.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com