OLUKIIKO lwe Ggwanga olukulu lukkirizza gavumenti okuwa ekitongole kya leediyo ne ttivvi y’eggwanga (UBC) obuwumbi 18 zikiyambeko mu kwezza obuggya n’okutereeza obuwereza bwakyo.
Lipooti y’akakiiko ka palamenti ak’ebyamawulire ne tekinologiya kakiriza gavumenti okuwa UBC obuwumbi 18 okutuukiriza ekiragiro kya pulezidenti,okusinziira ku akakubiriza Annet Nyakecho.
Ababaka bagamba nti ezimu ku nsonga ezeetagisa amangu UBC okuwebwa ensimbi z’okutereeza emirimu gyayo kye ky’okuba nti kkooti ensukulumu (supreme court) yalagira ekitongole kyonna okuwa ab’esimbawo ku bwa Pulezidenti obudde obw’enkyenkanyi okwogera ku pulogulaamu ze baalina eri eggwanga naddala mu kampeyini.
Nyakecho agamba nti kino kyetaagisa naddala ng’eggwanga lyetegekera okulonda kwa 2021 era ensimbi zirina kuwebwa mu bajeti ya mwaka gw’ebyensimbi ogutandika mu June 2019.
Akakiiko era kalagidde UBC okuwebwa obuwumbi buna okukola ku nsonga z’emisaala n’ensako y’abakozi n’okugisobozesa okuvuganya obulungi n’emikutu gy’amawulire emirala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com