EKIBIINA kye by’obufuzi ki Alliace For National Transformation ekyatandikibwawo munnamagge Gen. Gregory Mugisha Muntu kyadaaki kiwedde okuwandiisibwa mu bujjuvu.
Ssabawandiisi wa kakiiko ke by’okulonda mu Ggwanga Sam Rwakoojo ye yayanjudde ekiwandiiko ekikakasa ekibiina kye by’obufuzi kino ku lw’okutaano.
Yagambye nti baamaze okwekaliriza ebiwandiiko byonna ebyabaweebwa bannamateeka be kiiina kino era ne bazuula nti kisanidde era kituukirizza obukwakulizo bwonna obwetagibwa wansi we tteeka elifuga ebibiina bye by’obufuzi byonna mu Ggwanga.
Omwaka ogwaggwa Gen Muntu yayabulira ekibiina kye FDC ekimu ku bisinga obunene mu Ggwanga nga agamba nti waliwo byatakkaanya n’abakulu abakulira ekibiina kino.
Ono yategeeza nti yali takkaanya na nkola ye yaliko omukulembeze wa FDC Dr. Kiiza Besigye ey’okuguguba gye yayogerako nga eyali terina gyetwala kibiina naddala nga baalina ekirowoozo ky’okukyusa obukulembeze bwe Ggwanga.
Ono nga 27 Ogw’omwenda omwaka oguwedde yabikkula ekyama nga bwe yali atandise omugendo gwe yatuuma NEW FERMATION n’ekigendererwa ky’okukumakuma saako n’okuwandiisa bannakibiina kye yali agenda okutandika, nga kati wetuwandikidde bino ekibiina kyawedde okuwandiisa mu butongole.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com