PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni akangudde ku ddoboozi era nasaba Palimenti ne kitongole ekilamuzi okuvaayo okuteekawo amateeka amakakkali agagenda okukangavvula abatemu nga omutemu etteeka bwe limukwatako kiwa omulala eky’okulabirako abadde alowooza okutemula n’atakikola.
Museveni agamba nti nti ye akkiririza nnyo mu nkola ey’okutta omuntu aba asse munne mu bugenderevu kubanga kikolwa kikyamu ekitetagisa yadde okwewozaako.
Okwogera bino Yabadde akyaliddeko aba Famire y’omugenzi Dr. Catherine Agaba ku kyalo Orurerembo mu Gombolola ye Kagongi mu Ankole gye yagenze okubakubagiza oluvanyuma lw’okufiirwa omwana wabwe, eyattibwa nasuulibwa mu kinnya kya kazambi mu maka agamu e Muyenga mu kampala.
Ono eyatuuseyo ku ssawa nga 2:00 ez’ekiro yatwaliddwa buterevu ku ntaana we baaziise Agaba era oluvanyuma n’ayogerako naaba famire ye beyategezezza nti yewunya enkola yamateeka mu Ggwanga etuuka n’okutitiibya abatemu nga baletebwa mu kooti okwewozaako.
“Nze sikkiririza mu kumala budde nga bawozesa abatemu, era ekirungi wano waliwo n’ababaka ba Palimenti muveeyo mubage amateeka agagenda okukwata obuterevu ku batemu, nze nga omu ngamba atemudde omuntu bwamanyibwa naye attibwe awatali kumala budde” Museveni eyabadde omukambwe bwe yayogedde.
Mu kusooka Taata wa Agaba Fred Rutagamba yategezezza Pulezidenti nti simumativu ne mbeera omwana we gye yattiddwamu nti kubanga n’omuntu Poliisi gwe yakutte Ronald Obangakene bbo nga Famire tebasuubira nti yeyakoze obutemu buno nasaba Pulezidenti abayambeko mu kunoonya abatemu abatuufu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com