AKULIRA oludda oluvuganya mu Palimenti Betty Aol Ochan alabudde ekitongole kya Poliisi okukomya okukozesa amaanyi agasukkiridde ku mubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu kyagambye nti kuba kumumalako ddembe lye nga omuyimbi ate nga mukulembeze.
Ochan agamba nti Poliisi elina okukyusamu mu ngeri gyekwatamu abakulembeze kubanga olunaku lwe ggulo omubaka Kyagulanyi teyagenze ku Poliisi gye yabadde alina okutwala ekiwandiiko saako n’okwogeramu n’abakulira Poliisi ku ngeri gyatulugunyizibwamu nga kwotadde okumugaana okuyimba.
“Kati omubaka ono alina ekitundu kyakiikirira kyokka eggulo bamutangidde okufuluma amakaage era n’okuteesa mu lukiiko lwe ggwanga olukulu abantu be gye bamutuma teyagenze, ebyo tulina okubilwanyisa” Ochan bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde akyaliddeko omubaka Kyagulanyi mu makaage agasangibwa ku kyalo Magere mu Wakiso, oluvanyuma lwa Poliisi okusibira mu makaage nga takkirizibwa kufuluma, abakulira Poliisi kye bagamba nti bamukuuma okumutangira okuzza emisango okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Patrick Onyango.
Ohan abadde awerekeddwako ababaka okuli Odong Otto, Barnabas Tinkasimire nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com