OMUYIMBI era nga ye Mubaka wa Kyadondo East mu Palimenti Robert Kyagulanyi Sseentamu amanyiddwanga Bobi Wine avuddeyo nalangirira ekiddako oluvanyuma lwa Poliisi okusazaamu ekivvulu kye ekyabadde kitegekeddwa ku One Love Beach e Busabala ku Easter Monday.
Kino kiddiridde Bobi Wine okugezaako olunaku lwa mande okugenda ku Biiki eno nga ayagala okutuuzaayo olukungaana lwa bannamawulire kyokka Poliisi n’emusalako era n’emenya emmotoka mwe yabadde atambulira, ekyadiridde kwe kumukwata n’emuzza mu makaage agasangibwa ku kyalo Magere mu Wakiso.
Eno gye yasinzidde nategeeza nga bwagenda okukola ekiwandiiko ekilaga obutali bumativu ku ngeri abakuuma ddembe gye balinyiriddemu eddembe lye saako n’eryabawagizi be, era ye kenyini ekiwandiiko yaenda okukyetwalirayo ku kitebe kya Poliisi enkya y’olwokusatu.
Yagambye nti tagenda kutunula butunuzi nga bannabyabufuzi bakozesa ab’ebyokwerinda okutabangula kye yayise emirimu gye gy’okuyimba awatali nsonga yonna saako n’okutulugunya abawagizi be kye yagambye nti kiina okukoma amangu ddala.
” Nsazeewo okukola ekiwandiiko era nze kenyini nkyetwalire ku kitebee kya Poliisi nga ngitegeeza mu butongole nti tugenda kulaga obutali bumativu bwaffe mu mirembe era nga mukyo tugenda kusaba Poliisi etukuume nga tutambula” Bobi Wine bwe yagambye.
Ebivvulu ebisoba mu 100 ebyali byategekebwa omuyimbi Bobi Wine saako n’abategesi b’ebivvulu abalala bye byakasazibwamu mu bbanga lya mwaka gumu gwokka era nga abategesi bagamba nti mu mbeera eno bafiiriddwa ensimbi mpitirivu
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com