ABANTU abakozesa oluguudo mwasa njala oluva e Kampala okudda e Jinja balaze obutali bumativu olw’oluguudo luno olw’onoonese nnyo, era nga lulimu ebinnya biyitirivu bye bagamba nti bibaviiriddeko obubunje obutugumbudde ab’enganda zaabwe, emikwano n’abatambuze abalukozesa.
Mu bitundu omuli Banda, Kireka, Bweyogerere, Seeta ne Mukono oluguudo luno ebbali ne bbali yonna wawomoggoka ebinnya ebinene, saako ne mumakkati mwalwo namwo temweyagaza balutambulirako.
Yadde nga ekitongole kya Gavumenti ekivunanyibwa ku nguudo ki UNRA kigezezzaako okukuba ebilaka mu luguudo luno naye kikyali kizibu nnyo okubimalawo kubanga bye bakolako ate bye biddamu okuwomoggoka mu kaseera katono.
Bwotuuka mu kitundu kye Namanve nga ku kkampuni ekola enviiri z’abakyala eya Darling oluguudo luno lw’afundira ddala era nga lusigaddeko kawugiro, wano obubenje tebuggwawo oluvanyuma lw’okuba nti waliwo ebimotoka ebinene ebikyukirawo bingi ate nga ne kitundu kirabika nga ky’alutobazi.
Nga oyingira akabuga ke Seeta nawo ebinnya byesima mu kkubo wakati nga akaguudo akaliko koolaasi kasigalawo katono, olwo ate ne kalwanirwa ab’ebigere, pikipiki ne mmotoka.
Kimbowa Tonnya Ssonko Ssentebe we kyalo Kikooza mu munisipaari ye Mukono agamba nti oluguudo luno luvuddeko abantu bangi okufa naddala abatambulira ku zi Boda Boda kubanga baluyita ku bbali ate nga waliyo ebinnya bingi, olwo ne kibawaliriza okudda ku kkubo eddene emmotoka gye zibasanga ne zibatomera nga buli omu agezaako kwenyigiriza okufuna waayita.
Yagambye nti bwe watabeewo kikolebwa mu bwangu ku luguudo luno obulamu bwa bantu bangi buli mu katyabaga kubanga luyitako emmotoka nnyingi ennene eziva e Kenya okudda e Tanzania ne Rwanda.
Mayor we Kibuga kye Mukono George Fred Kagimu agamba nti ekizibu ky’oluguudo luno bakitegeeza Gavumenti buli olukya era nayo nga esuubiza okulukolako nti naye bakyalinda okulaba nga wabaawo ekikolebwa engeri gye luli nti luvunanyizibwako Gavumenti eyawakati.
Yasabye abagoba be bidduka okuvuga n’obwegendereza okwewala obubenje obuyinza okusibuga mu kuvugisa ekimama wakati nga oluguudo telunaddabirizibwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com