EBITONGOLE bye by’okwerinda eby’enjawulo ebyatereddwawo omukulembeze we ggwanga okusobola okuzuula abantu abaabadde emabega w’okuwamba omukyala munnaNsi wa America Kimberly sue, bakoze ekikwekweto ekikambwe ne bakwata abantu 2 abagambibwa okuba mu kobaane lino.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga agambye nti kituufu waliwo abantu be bakutte bataayogedde mannya olw’ensonga z’ebyokwerinda.
Agambye nti okusinziira ku maanyi g’ebataddemu n’obukugu mu kunonyereza kye kyaviriddeko okuzuula Omukyala munnaNsi wa America Kimberly saako n’omuyambi we Jean Paul Mirenge.
Ategezezza nti yadde nga baliko be bakutte naye tebagenda kussa mukka mu kunonyereza abantu abalala ab’enyigidde mu kuwamba kuno, naddala bagenda kunonyereza nnyo mu Disitulikiti ye Kanungu gye bajje bano be bakutte, saako ne bitundu ebirinanyewo.
Poliisi wamu n’amaggye basiimye ekikwekweto ekyakoleddwa basajja baabwe, nagamba nti engeri abaawamba gye bajja ne mmundu babadde balina okubanoonya n’obwegendereza kubanga baalina ebissi.
Okuva wiiki ewedde amaggye gakyagenda mu maaso n’okuwenja abazigu bano mu kitundu kyonna eky’ekifo ky’obulambuzi ekya Queen Elizabeth ne bitundu ebilinanyewo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com