ABATUUZE ku myalo egy’enjawulo mu Disitulikiti ye Buikwe balajanidde ekitongole kye bisolo okuvaayo okubataasa ku goonya ezibafuukidde ekyambika nga kati zakalya abantu 6 abalala ne bagendera ku bisago.
Bano bagamba nti abantu abasinga okuttibwa goonya zino baba bagenze kukima mazzi ku nnyanja olwo ne zibagwikiriza kumbalama.
Banyonyodde nti Abantu 4 ku mwalo gwe Lukonda ekisangibwa mu Gombolola ye Ngogwe be bakattibwa mu bbanga lya mwyezi 2, ate 2 bbo baali ba ku mwalo gwe Kigaya ekisangibwa mu gombolola ye Najja ku nnyanja Nalubaale.
John Bosco Luwandagga omu ku bavubi ku mwalo gwe kigaya yagambye nti kati tebakyakozesa nnyanja kubanga yafuuka y’abulabe eri obulamu bwabwe olwa goonya ez’esomye okubalya buli kadde.
” Tetukyakima mazzi, okunaaba oba okuvuba kubanga tutya nti goonya zijja kutulya, twagezaako okwekolamu omulimu tuzilwanyise naye zatulemerera kubanga zaali nkambwe nnyo era z’atutwala tetulinnya” Luwandagga bwe yagambye.
Yasabye Gavumenti okuvaayo ebataase ku goonya zino kubanga obulamu bwa bantu bangi butwaliddwa ate nga bbo nga abatuuze tebamanyi ngeri yakuzikwata.
“Tubonyebonye n’ekizibu kya goonya okulya banaffe, era tufubye okulajanira ekitongole kya Uganda Wildlife Authority, era ne tuwandiika n’amabaluwa kyokka tekituddangamu.” bwe yayongeddeko.
Madiina Nakimaka Namwandu wa Elifaazi Mwanda eyattibwa goonya ku mwalo gwe Lukonda yagambye nti, omwami we yali agenze kuvuba mu biseera by”okumakya nga eno goonya gye yamusanga nemugwiira n’emulumaluma era baaziika bitundutundu nga ebitundu ebilala ebimize.
Jane Kigayi nga ye mubaka wa Gavumenti e Buikwe yagambye nti bagenda kutandika okuteekawo emisomo mu batuuze abali ku mbalama z’ennyanja Nalubaale nga bali wamu n’ekitongole kye bisolo, saako n’okunonyereza okuzuula oba ddala emyalo gino giliko goonya nnyingi, olwo basobole okulaba butya bwe bazikwata.
Atwala eby’amawulire mu kitongole ky’ebisolo by’omunsiko Basir Hangi yagambye nti abatuuze b’eBuikwe babadde tebanavaayo kubategeeza ku nsonga eno, nagamba nti bagenda kusindikayo team yaabwe ekola ku kukwata ebisolo bagendeyo bazikwate saako n’okusomesa abantu okuba ab’egendereza nga batambulira naddala mu bitundu awli zi goonya ezo kubanga z’abulabe eri obulamu bwa bantu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com