MINISITA avunanyizibwa ku bibamba, ebigwa bitalaze n’abanoonyi b’obubudamu mu Ggwanga Hirary Onek agamba nti abakungu mu office ya Ssabaminisita abadda ku nsimbi z’abanoonyi b’obubudamu nga kwotadde ne mmere ne babibba, bwe bazuulibwa beetaaga kukubwa masasi mu lujjudde bafe kubanga babanga abazizza ogw’obutemu.
“Abantu bano bazimbye amayumba galikwoleka saako n’okugula enguudo wabweru we ggwanga nga ebizimbe ebiliko byonna byabwe, kyokka nga bakozesa nsimbi z’amunnaUganda omunaku saako n’abanoonyi b’obubudamu banange mumpagire abantu bano beetaaga kutta kubanga tebalumirirwa munaku” Onek bwe yagambye.
Okwogera bino yabadde mu wooteeri ya Speke Resort E Munyonyo ku lw’okubiri nga ayogerako eri abakungu b’ekitongole kya Intergovenmental Authority IGAD nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga btya bwe bagenda okulaba nga bafunira abanoonyi b’obubudamu emirimu, embeera y’okwebeezaawo, butya bwe bagenda okulabirira ebitundu mwe babatwala ne bilala.
Yagambye nti omwaka ogwaggwa yalagira omuwandiisi owenkalakkalira mu Minisitule y’ebigwa tebilaze mukyala Guwatudde Kintu Christine ayimirize mbagirawo abakungu 4 abaali bateberezebwa okukozesa obubi ensimbi z’abanoonyi b’obubudamu saako n’okubulankanya ebintu ebikozesebwa.
Yanyonyodde nti bano tebanaba kubatta kubanga ekizibu kikyali nti bagagga nnyo bayinza okutataaganya obujulizi ne kiletera ababanonyerezaako obutafuna bukakafu bumala kubalumiriza mu nsonga eno, nagamba nti ssawa yonna obwenkanya bwakufunibwa.
Bwe yabuuziddwa ku bikwata ku bantu abanoonya obubudamu 1,400 okuva e Burundi abaali balina okuddizibwa ewaabwe omwaka oguwedde, Onek yagambye nti bano bazzibwayo kyokka ne bakomawo nga bagamba nti eno baali bali bulungiko okusinga ewaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com