OKUVA minisita Aida Nantaba bwe yasongebwako kufuuka minisita mu 2012 ebintu tebimubeeredde byangu. Akakiiko ka palamenti akasunsula abaweebwa obwaminisita kasooka kumusimbira kkuuli era kumpi ebintu byatwala emyezi ng’ebiri nga takakasiddwa.
Ng’awamu agamba nti yatuula siniya ey’omukaaga mu 1996 ate awalala nti mu 1998. Ku S4 eyeemulugunya yagamba nti alaga nti yagituula mu 1994 ate awalala mu 1996. Akakiiko kaakakasa obuyigirize nti abulina kyokka ate waddawo okusika omuguwa nga baagala okuddamu okumulemesa nga bamugamba nti alina empisa embi.
Kigambibwa nti Pulezidenti Museveni yawandiika ebbaluwa ng’agamba palamenti ekkirize Nantaba okuba minisita nga buteerere. Kyokka oluvannyuma akakiiko kano akaali kakubirizibwa omumyuka wa sipiika, Jacoub Oulanyah, kaayisa erinnya lya Nantaba wabula era ne wabaawo abaayagala okusimba ekkuuli nga bagamba nti tekaamuyisa mu mateeka palamenti eya wamu ye yandibadde ekikola oluvannyuma lw’okusika omuguwa okwaliwo. Nantaba yagamba bannamawulire mu kiseera ekyo nti abaali bamulemesa baali bakikola lwa buggya olw’okuba Pulezidenti Museveni yali amukkiririzaamu.
Ng’afuuse minisita wakati wa August 15, 2012 ne June 6, 2016 Nantaba yasanga obuzibu bunene ng’alwanyisa abaali bagobaganya abantu ku ttaka naddala e Kayunga. Yalwana nabo entalo nnyingi ng’ezimu zaamutuusa ne mu kkooti era olumu kyategeezebwa nti yalina okufuna omusaala gwa 18,000/- buli mwezi ng’endala zisaliddwaako olw’okuliyirira abaamuwaabira mu misango gy’ettaka.
Mu March 2017, Nantaba nga minisita omubeezi ow’ensonga za tekinogiya yalumiriza eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura nti amutambulirako n’agamba nti mweraliikirivu olw’abaserikale abamulondoola. Nantaba yagamba nti ensonga yazituusa dda ewa Pulezidenti era ye yali agenda okusalawo ku kyali kilina okuddirira.
Nantaba yagamba nti Kayihura yali yeegasse ku kikoosi kya bannannyini ttaka abaali basengula abantu nga bakulemberwa ssentebe wa NRM e Kayunga, Moses Kalangwa. Nantaba yatuuka n’okulangira Kayihura nti alemeddwa okukola ku mivuyo mu poliisi nti wabula obudde obusinga yali abumala ku ye.
N’awa eky’okulabirako : ‘’Nga October 26, 2015 ku ssaawa 4:00 ez’ekiro DPC w’e Kayunga yaduumira abaserikale bajje bamutuuseeko obulabe Katonda n’azza bibye, kyokka Kayihura talina kye yakola ku muserikale we oyo. Baakuba amasasi mu bawagizi bange, ne bankuba ttiyagaasi ne kaamulali.
Baali banzise ne ntwalibwa mu ddwaaliro e Nairobi ne mu Amerika. Naloopa mu kitongole ekikwasisa empisa ekya Professional Standards Unit (PSU) ne bakola ne lipoota naye tewali kyakolebwawo. Era mu kunkolako effujjo, yakyogera enfunda eziwera nti atumiddwa mukamaawe’’ Kyokka Kayihura yabyegaana n’agamba nti tamanyi Nantaba by’ayogera gy’abiggya.
Kayihura yeerwanako : ‘’Kati mutuuseeko obulabe nkifunemu ki? Naye ddala Nantaba namukola ki? Mpulira agenda atuuza enkiiko ng’anjogerako nti mmulondoola, kati yatuuse n’okundoopa nti nze ndi emabega wa minisita (Persis Namuganza) gwe babadde bayomba naye ebiseera ebyo!” Naye lwaki omukyala ono ampaayiriza?
Bw’aba alina entalo ne Karangwa nga bakaayanira ettaka, ate nze binkwatirako wa? Sirina ttaka Kayunga era sirina ntegeka zisengulayo bantu yadde okubaako gwe mpagira mu basengula ab’ebibanja.
Nze ekyantwala e Kayunga nga bakaayanira ettaka, kwali kuzzaayo butebenkevu nga Poliisi. Era ekyo nakikolera ddala ne Pulezidenti akimanyi. Kati bw’aba anninako obuzibu obulala, abwanjule mu mitendera emituufu nga minisita alina obuvunaanyizibwa’’ Kayihura bwatyo bwe yagamba ng’akyali muduumizi wa poliisi.
Oluvannyuma lw’okuwangula obubaka bwa palamenti okukiikirira disitulikiti y’e Kayunga ku tikiti ya NRM mu 2011 teyasobola kuddamu kuyita mu kamyufu ka kibiina. Era mu 2016 yeesimbawo ku lulwe n’awangulira ku bululu 86,057 ng’ate Juliet Nalunga owa NRM yafuna 13,184.
Yaddamu okuweebwa obwaminisita bw’eggwanga obw’ensonga za tekinologiya kyokka olutalo olulala ne lukoleera ne minisita Persis Namugamza eyamuddira mu bigere mu minisitule y’ettaka.
Ku minisita Persis Namuganza, Nantaba yagamba nti : ‘’ Oyo minisita Namuganza aliko abamusindika okunsoomooza naye tajja kunsobola’.’ N’agamba Namuganza nti ebintu by’ayingiramu eby’ettaka ly’e Kayunga tabisobola abirekere ye akiikirira abantu baayo.
Batandika okuwanyisiganya ebisongovu ne Namuganza okumala akabanga. Nantaba agamba yakola lipooti n’agiwa Pulezidenti ku ngeri abantu gye babundabundamu ku ttaka. Mu lipooti gye yawa Pulezidenti, Nantaba yagamba nti obwavu bwali bweyongedde ng’abantu babundabunda tebakyasobola kulima mmere.
Ennaku zino abadde yasirika ku nga tayogera yadde okuwa bannamawulire omukisa, abadde ab’ebalama okutuusa ku sande bwe yafunye ekyekango abasajja babiri bwe bamuwondedde nga baagala okumutuusaako obulabe, wabula abakuumi be ne poliisi ne babatebuka era ne battako omu, omulala n’abulira mu bitundu bye Kimenyedde mu Mukono.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com