ABATUUZE mu kibuga kye Mukono bafunye akaseko ku matama oluvanyuma lw’okukubwa enkata ey’emmotoka empa ttuku egenda okuyoola kasasiro abadde abasibyeko akanyaaga.
Bano bagamba nti ebbanga lyonna babadde balajanira abakulembeze okunogera eddagala embeera ya kasasiro abadde asasaanira ekibuga, nga emmotoka ezibaddewo zibadde tezimalaako.
Emmotoka eno eyaguliddwa obukadde bwa Uganda 550 eyanjuddwa Meeya we kibuga kino George Fred Kagimu nga yakatuusibwa Entebbe.
Kagimu agambye nti tayagala kuddamu kuwulira bannaMukono nga bakaaba Kasasiro kubanga emmotoka eno egenda kuba nga emalawo obuzibu buno.
Anyonyodde nti yakika kya IVECO enkola ye Ggwanga lya Italy, gyayogeddeko nti ngumu nnyo obutafananako ne za China ze babadde nazo, era nga egendanga kwetikka ttani eziwerera ddala 20, nga kitegeeza nti bwenaabanga eyise mu kitundu temugenda kusigala bisaniikao.
“Saagala kuddamu kulaba Kibuga kikyafu, era abatuuze baffe njagala babeere balamu, endwadde ezisibuka ku bujama saagala kuddamu kuziwulizaako, kubanga kati kasasiro mmaze okumunogera eddagala” Kagimu bwe yagambye.
Ekibuga kye Mukono kibadde kilina Ttulakita emu ate nga nkadde nnyo, saako nebimotoka 2 ebiyoola kasasiro nga bino byawebwayo Gavumenti ya wakati kyokka nga bibadde bikaddiye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com