ABAKIISE mu Palimenti ab’ekibiina kya NRM abali mu lusilika oluyindira mu Ttendekero lye by’obukulembeze e Kyanwanzi, olumaze okuyisa eky’aSsentebe wabwe okudda avuganye nga tewali amwesimbyeko, kati obwanga babwolekezza ky’akwongeza ku myaka munnaUganda ayagala okwesimba ku bwa Pulezidenti, okuva ku 18 gye bakayisa jjuuzi bagise ku 45.
Bano awatali kwesalamu ku nkomerero ya ssabiiti ewedde baayongedde ne bakoonamu stampu mu kiteeso ekyayisibwa olukiiko olw’okuntikko olwe kibiina CEC olw’atuula ku wooteeri ya Kyobe gyebuvuddeko, olw’asalawo nti okusinziira ku Ssentebe ebirungi byakoledde Eggwanga era nga ye nnamba mwenda weaabwe, tebalina gwe bayinza kumusimbako mulala.
Nga kino kyali kilindiridde Ababaka b’olukiiko lwe Ggwanga abali mu kabondo ka NRM okusalawo, era nabo kye baakoze.
Ensonda ez’esigika e Kyankwanzi zilaga nti mu nnaku 2 ezisigaddeyo obwanga bagenda kubwolekeza butya bwe bagenda okuleeta ebbago mu Palimenti elikugira omuntu yenna atanaweza myaka 45 okwesimbawo ku bukulembeze bwe Ggwanga.
Kino kitegeeza nti bye baali baayisa gye buvuddeko bwe baali baagala okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we Ggwanga, nga bagamba nti omuntu yenna kasita atuuka okulonda ku myaka 18 aba asobolera ddala okwesimbawo ku bukulembeze bwonna, baba babivuddeko, nga kitegeeza nti baba bagenda kuddamu okukwata mu Ssemateeka okusobola okukyusa akawakatirwa ako.
Abamu ku booludda oluvuganya bagamba nti kino ababaka ba NRM baagala kukikola okusobola okusibira munna kisinde kya People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu alame okwesimba ku bwa Pulezidenti kubanga tanaweza myaka 45, egiba gikkirizibwa okwesimbawo.
Bano era batandise ne Kawefube agendereddwamu okusobola okunyweza obuwagizi bwabwe mu Buganda nga, bwe bwazibidde eggulo ababaka ba Buganda baalonze akakiiko akagenda okukwasaganya abawagizi be kibiina kyabwe mu Buganda saako n’okutuukirira ebitongole bisobole okubawa obuwagizi.
Kino kiddiridde olunaku lwe ggulo ababaka okusaba Ssentebe wa Kabondo k’aBabaka abava mu Buganda ere nga ye mukiise akikirira ekitundu ekya Mukono South mu Palimenti Hon Johnson Muyanja Ssenyonga eleete ekiteeso ekikkiriza omukulembeze we Ggwanga okudda okuvuganya nga teri amwesimbyeko nagaana nga agamba nti ye takulembera ba NRM bokka mu Palimenti.
Bano oluvanyuma nga bakulemberwamu Nnampala wa NRM Palimenti Hon. Ruth Nankabirwa beekqwanyizza era ne balonda abakulembeze baabwe abalala era nga ekifo ky’obwa Ssentebe kyawereddwa Omukiise we Kabula Hon James Kakooza, nga ono agenda kumyukibwa Hon Saida Bumba okuva e Nakaseke South, Omuwanika ye Hon Muyanja Mbabali okuva e Bukoto South, Omuwandiisi ye Hon. Muyomba KLasozi okuva e Bukoto Mid West ate omwogezi waabwe baalonze Hon. Simeo Nsubuga okuva e Kassanda South.
Bano era baalonze Omubaka omukya owe Kiboga Hon. Ruth Nankabirwa okutuula ku lukiiko luno obutereevu, ate Dr Micheal Bukenya omubaka akiikirira Bukuya naye yalondeddwa okutuula ku lukiiko luno, nga Hon Sam Kahamba Kuteesa owe Mawogola yagenda okuba Omuyima waalwo.
Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire oluvanyuma lw’okulondebwa omwogezi w’olukiiko luno Hon Simeo Nsubuga yagambye nti olukiiko luno ssi kabondo ka Babaka ba Buganda wabula lukiiko lugenda kunyweza buwagizi bwa kibiina kyabwe ekya NRM mu kulonda okujja mu mwaka 2021.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com