KKAMISSONA wa Poliisi Sam Omala amaliridde okwabulira ekitongole kya Poliisi kyakoleddemu ebbanga eddene, yeegatte mu by’obufuzi.
Omala nga yaliko akulira ebikwekweto mu Kampala ne miriraano, era nga yamanyika nnyo mu kukwata n’okuggalira bannabyabufuzi naddala ab’oludda oluvuganya Gavumenti, mu kiseera we wabererawo okwekalakaasa omwali Walk To Work ne bilala. Era yamanyika nnyo nga OmuPoliisi atatya kwogera ku nsonga yonna era nga tatisibwatiisibwa bannabyabufuzi.
Kati avuddeyo agamba nti awezezza emyaka 60 egy’obukulu egimusobozesa okuwummula emirimu gya Gavumenti akole ebilala.
“Banange mpezezza emyaka gye nina okuwummmulirako emirimu gya Poliisi, era teri muntu yenna asobola kungaana kuwummula kaaabe Ssabadumizi, era kati nsazeewo ngenda kuddayo ewaffe nvuganye ku kifo ky’obubaka bwa Palimenti mu kitundu gye banzaala ekya North Budaama mu Disitulikiti ye Tororo.
Essaawa ya kalulu nga atuuse mu 2021 ngenda kulangirira mu butongole, kubanga kino kye kiseera okulaba nga nvaayo nange mpereze ku bantu b’ekitundu gye bazaala, mwe temulaba nga nkoledde nnyo mu bitundu ebilara gye batammanyi nakummanya?” Omala bwe yabuzizza.
Okwogera bino yabadde awayaamu ne bannamawulire abamusanze mu makaage agasangibwa ku kyalo Senda ekisangibwa mu Gombolola ye Kirewa e Tororo, gy’eyasinzidde okwasanguza nga bwayagala obukulembeze.
“Mmaze okwebuuza ekimala ku bataka n’emikwano mu kitundu kino , wabula simaze gavaayo, abataka mbatuukiridde ne mbategeeza saako n’emikwano gyange mu kitundu kino era ne bampa amagezi ge ngenda okutambulirako mu lugendo lwange olw’ebyobufuzi.
Abantu mu kitundu kino babadde bajaguza bul lwe nfuna amayinja mu Poliisi, era nga babadde bansaba buli kadde nzijje tukulakulanyize wamu ekitundu kyaffe nange sisobola kubayiwa, kubanga nange nina okubeera ekitundu ku kukyusa ekitundu kyaffe ekye Tororo” Omala bwe yayongeddeko.
Yagambye nti ayagala nnyo okulaba nga abantu mu kitundu kye Budama baterera, kubanga bamaze ebbanga ddene nga balina obutakkaanya obusibuka ku mawanga mu kitundu kino kyokka nga abakulembeze abaliko kati bwabalema okumaliriza, okugeza Abateeso bagamba nti Abajapadhola babasosola nga bagamba nti ssi beewaffe kyokka nga abantu bano baasenga dda mu kitundu kino era nga batuuze abakukutivu ddala, nga kino kituusizza Abateeso okwagala okutondawo Disitulikiti eyabwe beekutule ku Tororo.
Omala yeegatta ku poliisi mu mwaka gwa 1989 era nga akoledde mu bitundu eby’enjawulo nga bwalinyisibwa amadaala, ono era ajjukirwa nnyo mu kuyamba muPoliisi munne Muhamad Kirumira bwe yali akwatiddwa naggalirwa e Nalufeenya nga omala yeyamweyimirira okuva mu kaddukulu nga agamba nti amuyamba nga mukoddomi we kubanga yawasa mu Baganda.
Mu kiseera kino obuvunanyizibwa bwalina mu kitongole kya Poliisi butankanibwa kubanga omulimu gwe ogw’asemba okumanyika ennyo yali awereddwa obuvunanyizibwa okuddumira ebikwekweto mu bitundu by’obuvanjuba bwe Ggwanga mu kiseera ky’okulonda kwa 2016, oluvanyuma yatekebwa ku katebe eyali Ssabaddumizi wa Poliisi mu kiseera ekyo Gen. Kale Kayihura nga agamba nti yali yeetaaga okumala okunonyerezebwako ku nsonga ezitaagenda bulungi mu kiseera ekyo.
Wabula abantu abamu mu kitundu kye Budama Omala bamwogerako nga omwana wabwe atuukirirwa buli muntu ate nga tabasosola, Munnadiini era ayamba nnyo, nga kuno kwe basinziira okulowooza nti asobola okugatta abantu mu kitundu kyabwe.
Ate abalala bagamba nti talinaky’asobola kukolawo kubanga abadde mu kitongole kya Poliisi nga ayamba Gavumenti eri mu buyinza okw’eremezaawo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com