OMUBAKA wa Munisipaari ye Mityana Francis Zaake Butebi ayimbuddwa okuva mu mbuzzi ekkogga gy’abadde yatwalibwa nga 21 omwezi oguwedde.
Zaake atereddwa ku kakalu ka kooti ku mande nga 4 ogw’okusatu okuva mu kkomera ekkulu mu Disitulikiti ye Gulu oluvanyuma lw’okukwatibwa amangu ddala nga yakamala okuteebwa okuva mu kooti ye Arua gy’avunanibwa emisango okuli ogw’okutoloka mu kkomera n’okwetaba mu bikolwa ebyeffujjo eby’aviirako okukuba emmotoka ya Pulezidenti amayinja ag’ajaasa endabirwamu.
Abamweyimiridde kubaddeko omubaka wa Butambala mu Palimenti Muwanga Kivumbi, Namirembe Bridget Ndagire ne Daniel Mugambwa, nga bano Omulamuzi wa Kooti enkulu e Gulu Stephen Mubiru abalagidde basasule ensimbi milliyoni 10 ezitali z’abuliwo.
Zaake naye alagiddwa okusasula ensimbi obukadde 5 ezitali z’abuliwo.
Abadde akiikiriddwa ba Puliida be okuli Andrew Komakech Kilama ne Tonny Kitara, ate oludda oluwabi lukiikiriddwa akulira abawaabi be misango mu kkooti enkulu etuula e Gulu Patrick Omia.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumizibwa akulira okunonyereza ku misango mu ggwanga Grace Akullo, Zaake yali yabuuka akakalu ka Poliisi akamuweebwa ku misango gy’okulya munsi olukwe gye yazza mu kiseera we wabererayo okulonda okw’okuddamu akalulu k’omubaka wa Arua oluvanyuma lw’omubaka Ibrahim Abiriga okufa.
Ono avunanibwa n’omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu, omubaka wa Arua eyalondebwa Cassiano Wadri, owa Jinja Munisipalite Paul Mwiru nabalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com