BAKANSALA ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Jinja katono ebifuba bibabugume ng’entabwe eva ku kiteeso eky’okusengula ekitebe kya disitulikiti okuva mu kibuga wakati okukitwala mu ssaza ly’e Kagoma.
Ekiteeso kyayanjuddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okuzimba era kansala, Muhammad Ntuuyo akiikirira abavubuka ku lukiiko lwa Disitulikiti ye yayanjizza alipoota ku lw’akakiiko.
Bano okwabadde Jennifer Kongo akiikirira Jinja East ne Said Maaka be baasoose okuva mu mbeera nga baagala bakiteeseeko wabula Nyende ne yeerema nga bw’abategeeza nga bw’alina obuyinza obw’enkomeredde okusalawo. Kino kyanyiizizza Kongo kwe kuva mu ntebe n’ayagala okumubuukira wabula omuserikale wa poliisi yayanguye okumutangira.
Kongo yagambye nti sipiika takkirizibwa kusalirawo kanso nti kye yakoze kimenya mateeka era kiraga kyekubiira.
Nyende, akiikirira eggombolola y’e Buyengo ng’eno esangibwa mu ssaza ly’e Kagoma.
Kongo yamuwadde amagezi nti bw’aba awulira ng’ayagala kuteesa mu lukiiko ekifo akiveemu balonde omuntu omulala amanyi eky’okukola nga teyeekubiira.
Ye Maaka yategeezezza nga bwe bataweereddwa mukisa kukubaganya birowoozo ku nsonga eno n’agamba nti Nyende yasazeewo mu bukyamu.
Yeewuunyizza lwaki baagala okusenguka ate ng’akakiiko ka Uganda Land Commission kaabakkiriza okusigala mu ofiisi ze balimu n’agamba nti kino kyakwonoona ssente y’omuwi w’omusolo.
Maaka yagambye nti gandiba nga malya nsimbi ge gasumbuwa abamu ku bakulembeze.
Byabadde bikyali bityo, Florence Asio nga ye mumyuka wa ssentebe wa LC5 e Jinja n’ategeeza nga bwe bawagira okusengula ekitebe.
“Ab’e Kagoma nabo bantu, buzibu ki okutwalayo ekitebe,” Asio bwe yababuuzizza.
Wabula kino kyayongedde okuggya Kongo mu mbeera ne batandika okwerangira nga buli omu bwe yabba abasajja ba bannaabwe.
Oluvannyuma Nyende naye yayabulidde olukiiko nga telunnaggwa ng’embeera emususseeko
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com