OMUKULEMBEZE w’ekisinde kya “The People’s Government” Dr. Kiiza Besigye kuluno emmundu agikyusizza n’agitunuliza omukulembeze wa People’s Progressive Party Dr. Abed Bwanika, n’amulangira okukukuta ne Ssentebe we kibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni gwagamba nti amuwa ensimbi atangule oludda oluvuganya Gavumenti.
Besigye nga bulijjo tatera kwatula mannya g’abannabyabufuzi kuluno yanokoddeyo Bwanika gwe yayogeddeko nti mu kiseera ky’okulonda kwa 2006 bwe bagenda mu kooti nga bavunaana Pulezidenti Museveni okubba obululu yavaayo nategeeza abalamuzi nti eyali alangiriddwa ku bukulembeze ye yali awangudde ate nga tabbye bululu.
Okwogera bino yabadde mu kitundu kye Mayuge mu Busoga ku lw’omukaaga mu kawefube w’okutambuza enjiri ye eya People’s Government, nga eno gye yasinzidde naalangira Bwanika obunnanfuusi saako n’okukolera Pulezidenti Museveni.
“Bwe twawaaba emisango omuli okugulirira abalonzi, okunyaga obululu, Okusiba abantu baffe mu makkomera awatali musango ne bilala, Bwanika yavaayo n’akola ekilayiro nga agamba abalamuzi nti byonna bye twayogera byali bikyamu, nti era akalulu ako kaali ka mazima na bwenkanya kyokka nga naye kennyini yaketabamu era nga neebyagenda mu maaso byonna yabilaba, ba Sebo ne Bannyabo ani ku ffembi akolera Museveni?” Besigye bwe yategezezza abatuuze be Mayuge.
Yayongedde nabategeeza nti yadde nga abalamuzi awatali kwesalamu bonna baalaba nga waaliwo ebilumira mu kulonda okwo, nti kyokka tekyalobera Bwanika kuvaayo nawolereza Museveni nti yawangula n’amazima.
Bino nga tebinabaawo ku lw’omukaaga lwenyini ekibinja kya bavubuka ab’eyita eb’ekibinja kya People Power bazinganko Besigye bwe yali ava ku leediyo ya CBS wakati mu bulange ne baagala okumukuba nga bagamba nti bamukooye alekere Kyagulanyi avuganye ku bwa Pulezidenti mu 2021, era abantu ab’enjawulo ne bavaayo ne bavumirira ekikolwa kino nga ne Kyagulanyi yennyini mwaali.
Besigye era yesamudde ebigambibwa nti ekimutegesa okwekalakaasa aba alina ensi z’akufunamu, nagamba nti aboogera ebyo balimba abatetaaga kuwuliriza.
Besigye yatandika okwesimbawo mu mwaka gwa 2001, nga kati yakesimbawo emirundi 4 naye nga tawangulangako n’ogumu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com