PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni alagidde ba RDC okuddayo mu bitundu gye yabatuma batandike okwekenenya ebiluma abantu be saako n’okubitegeera kyagamba nti kijja kubayamba okumanya eky’okukola nga tebatawanye nnyo.
Museveni agamba nti omukulembeze bwatategeera bantu baakulembera kimuberera kizibu n’okugonjoola ensonga eziba zitawanya abantu be, olumu abantu be natuuka n’okubayita abazibu songa yalemwa bulemwa okubategeera.
Okwogera bino Pulezidenti yabadde mu makaage Entebbe mu kiro ekyakeesezza olw’okusatu bwe yabadde asisinkanye ba RDC n’abamyuka baabwe, oluvanyuma lw’okutendekebwa mu mbeera z’obukulembeze mu musomo agw’amaze wiiki ennamba mu tendekero lye by’obukulembeze e Kyankwanzi.
Nate yabakutidde okwewala okuyingira mu nsonga ezitali zaabwe, nagamba nti balina kukola ebyo bokka ebigwa mu kkubo ly’emirimu egyabakwasibwa.
“Ensonga ezimu muzirekere Kooti yeeba ezigonjoola nga eyita mu mateeka, so si mwe ate kwefuula kooti, ne mutuuka n’okukozesa abaselikale b’eggwanga okukola emirimu egitali mu mateeka, ebyo bityoboola ebitiibwa byamwe saako n’okwonoona elinnya lya Gavumenti ya NRM” Museveni bwe yabategezezza.
Yayongeddeko nti bwe batwalibwa e Kyankwanzi baba baagala kubongerako bukodyo butya bwe bayinza okukolaganamu n’abantu saako n’okubategeera nga omusawo bwatasobola kujjanjaba mulwadde n’awona bulungi okujjako nga amaze kumukebera bulungi naazuula ekimuluma.
“Ekilala mulina okukola ennyo okusobola okunyweza Gavumenti gye muwererezaamu, nga mukola emirimu mu bwesimbu n’amazima, kubanga bwe mukola obubi abantu bajja kukyawa Gavumenti.” Museveni bwe yategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com