Bannamawulire ab’egattira mu bibiina eby’enjawulo nabo bavuddeyo ne beegatta ku bantu abalala okuvumirira empisa ezitabadde z’abuntu ezalagiddwa munnamaggye Gen. Matayo Kyaligonza wamu n’abakuumi be bwe bazze ku munamawulire munaabwe peter Otai akola ne kitongole kya UBC ne bamukuba saako n’okwagala okumutuga.
Akulira ekitongole ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ekimanyiddwanga Human Rights Network For Journalists Uganda (HRNJ-U) Robert Sempala, saako ne Ssabawandiisi w’ekibiina ekibagatta mu Ggwanga ki Uganda Journalists Association (UJA) Bayola Moses awatali kwesalamu ku mande bategezezza nti ebitongole byombiriri bigenda kulwana bwezizingirire okulaba nga munnamawulire Otai afuna obwenkanya oluvanyuma lw’okukubibwa bwe yabadde akwata ebifananyi mu kabuga k’eSeeta Mukono ku sande nga abaselikale ba Gen. Kyaligonza bakuba omuselikale w’okunguudo Esther Namaganda.
Bategezezza nti bagenda kugoberera bulungi omusango gw’okukuba Otai gwe yawaabye ku poliisi ye Seeta, era balabe nga Kyaligonza n’abaselikale be bavunanibwa mu mbuga z’amateeka.
“Tetusobola kutunula butunuzi nga abaselikale b’eGgwanga bagenda mu maaso n’okutulugunya bannamawulire ababa bakola emirimu gyabwe, kuluno naffe tugenda kwelwanako nga tukozesa amateeka bakangavvulwe.” Sempala bwe yagambye.
Ye Otai agamba nti ab’amaggye katono bamukutule ensingo bwe babadde bagezaako okumujjako kkamera ne ssimu bye yabadde akozesa okukwata ebifananyi nga batulugunya omuselikale w’okunguudo.
Olunaku lwa sande abaselikale ba militale abakuuma Major Gen Matayo Kyaligonza baakutte omuselikale wa Poliisi y’okunguudo Esther Namaganda ne bamukuba bwe yabadde abatangira okukyukira mu kkubo wakati, ne kyaddiridde kukuba munnamawulire, eky’aleseewo akalippagano k’ebidduka saako n’abantu okuvumirira ekikolwa ekyakoleddwa abaselikale ku munaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com