MINISITA avunanyizibwa ku nsonga z’obwaPulezidenti Esther Mbayo alabudde Ababaaka ba Gavumenti bonna mu Ggwanga okwewala omuze gw’okwefuula abalamuzi ku nsonga z’ettaka mu bitundu gye bakolera, nagamba nti balina kuzisindika mu kkooti z’amateeka ze zibz zilamula okwewala ebiddirira.
Mbayo agamba nti omulimu gwa ba RDC ogusinga obukulu wakati mu nsonga ze ttaka kutabaganya baba basowaganye sso ssi kusalawo nga bwe baba balabye, kyagamba nti olumu kiletawo obutali butebenkevu mu bitundu gye bakolera, saako n’abantu okutandika okubalaba obulala.
Okwogera bino abadde aggulawo olusilika lwa ba RDC bonna mu ggwanga oluli e Kyankwanzi mu ttendekero ly’ebyobufuzi ku lw’okuna.
“Banaffe mutusobedde kubanga mutuuse n’okugenda ku mattaka g’abantu ne mupima saako n’okuteekamu obuyinja, okwo kwe mugatta okutisatiisa buli muntu olw’okuba wabaawo ababawadde akasente, ebyo byonna bikyamu omulimu gwammwe omukulu kutabaganya nkiddamu.” Mbayo bwe yagambye.
Yayongeddeko nti waliwo n’abamu abalemererwa okutekawo empuliziganya wakati waabwe ne ba Ssentebe ba zi Disitulikiti gye baasindikibwa saako abakulira abakozi nga kwotadde ne ba kkansala, nagamba nti kino kikosa emirimu gyabwe.
Yanokoddeyo bwe yabadde mu lukungaana lwe kibiina ekigatta abakulembeze ba Gavumenti ez’ebitundu, bwe baamutegezezza nti ba RDC betwalira waggulu, tebagambwako olw’okuba basindikibwa Pulezidenti, nti era tebabeera ku mirimu abasinga basiiba mu Kampala ne birala, nagamba nti kuluno tebagenda kulonzalonza bagenda kubajjayo basobole okuteekayo abasobola okukola emirimu.
“Mulina okuwerezanga alipoota buli myezi esatu ezilaga biki bye mukoze saako neebyo ebibalemeredde tusobole okubisalira amagezi, naye abasinga babajjukiza bujjukiza okuwereza ebintu ebyo kale ne kikosa entambula ye mirimu mu offiisi y’obwaPulezidenti gye muwererezaamu.” Mbayo bwe yayongeddeko.
Olusilika lwakumala ssabiiti nnmba nga bateesa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com