MINISITA omubeezi owe ttaka Persis Namuganza alagidde Poliisi mu Disitulikiti ye Jinja okuyita saako nokunonyereza ku bantu abeekomya ettaka lye ssomero lya Spire Road Pulayimale elisangibwa mu kibuga kye Jinja.
Ekilagiro kino Namuganza akiweredde mu lukiiko olutudde ku ssomero lino olukubiriziddwa Minisita webyenjigiriza ebisokerwako Rosemary Senninde era nga lwetabiddwamu, abakulira ebyokwerinda bonna mu ttundu ttundu lye Jinja, omubaka akikirira ekitundu kino Paulo Mwiru, saako nabazadde bonna abe ssomero lino.
Namuganza agamba nti ettaka lye ssomero lino abantu baalyesenzaako era nga kuliko ebyapa 28, nga tebamanyi mitendera ababifuna mwe baayita kubanga abakulira essomero lino tebalina kye bamanyi.
Yategezezza nti essomero telikyalinawo yadde akataka kwe likolera mirimu songa emabegako baalina yiika eziwerako ekyayambanga nabaana okubaako kye bakolerako ekibayamba, wano ne yewuunya abantu abalikkakanako ne balyekomya bonna, be yayogeddeko nga abatayagaliza byanjigiriza kugenda mu maaso mu kitundu kye Busoga.
Mu lukiiko luno era kyasaliddwawo banonyereze ku ngeri saako ne kigendererwa kya Makerere Yunivasite ettabi erye Jinja butya bwe lyafuna ebimu ku bizimbe bye ssomero nga ekitongole kye bye njigiriza mu Ggwanga tekimanyi.
Ye Minisita Senninde mu kwogerakwe yanenyezza abantu abeesenza ku ttaka lye ssomero era wano nabikkula ekyama nti ayimirizza mbagirawo okukyusa abasomesa abawerera ddala 10 ku ssomero lino.
Kino kyazzewo oluvanyuma lwabayizi nabazadde be Ssomero lya Spire okwekalakaasa wiki ewedde nga bawakanya okukyusibwa kwa baswomesa 10 okuva mu ssomero lino saako nokuwakanya butya ettendekero lya Makerere Yunivasite engeri gye lyafunamu ebizimbegye baagamba nti teyali nnungamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com