MINISITA omubeezi avunanyizibwa ku by’enjigiriza ebya wansi Rosemary Nansubuga Senninde alidde mu ttama n’awera okuttunka n’abassomesa abagufudde omuze okukeeza abaana abato ku massomero saako n’okubasomesa mu budde bwe kiro, kyagambye nti kubeera kubatulugunya.
“Okutulugunya okw’ekika kino siyinza kukukkiriza nga nkyali Minisita, kubanga abaana abato beetaaga okufuna okuwummula okumala, kino kisobozese obwongo bwabwe okwetegeka obulungi saako n’okwagala okusoma” Senninde bwe yategezezza.
Okwogera bino yabadde asisinkanye abasomesa bonna mu Disitulikiti ye Wakiso, okusobola okutema empenda butya bwe bagenda okuddukanyamu amassomero ga Gavumenti nga kwotadde n’okuyamba abayizi baabwe okukola obulungi mu bigezo.
Yabalaze akabi akali mu kukeeza abaana abato ku massomero omuli bassedduvu tto okubakwata, empewo okubafuyiira ku zi Boda Boda saako n’okwetamwa okusoma nga bakyali bato, n’abasaba nti bino bilina okukoma amangu ddala.
Abasomesa bamulombojjedde ennaku gye basanga mu massomero gye basindikibwa okukolera omuli obutaba n’amayumba mwe basula, ebizimbe okuba ganyegenya, obutaba na zikabuyonjo nga kwotadde n’abazadde obutafa ku baana babwe omulimu ne bagulekera basomesa bokka.
“Tewali kiyinza kutugaana kuyisa baana singa Gavumenti nayo etuukiriza obuvunanyizibwa bwayo mu massomero gye batusindika, saako n’okutulabirira mu bye nsula” Abasomesa bwe bategezezza Minisita Senninde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com